Amawulire

Poliisi ekutte abantu bataano abagambibwa okuba mu kibinja ekirudde nga kirondoola abasuubuzi ne babanyagako ssente.

By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi ekutte abantu bataano abagambibwa okuba mu kibinja ekirudde nga kirondoola abasuubuzi ne babanyagako ssente. 

Okubakwata, kidiridde poliisi okugwa mu lukwe olubadde lulukiddwa nga bagezaako okulondoola omukozi wa mobile money abadde ajja ssente ku Kaleerwe okuzitwala mu banka.

Abakwatiddwa, kuliko Rogers Muyingo, Ashford Juma, Musa Masiga, James Wanyama ne Ivan Gizamba agambibwa okukuliramu ekibinja.

Bano era basangiddwa ne pikipiki bbiri okuli UGG 664A ne UMA 567W ezigambibwa okweyambisibwa mu bubbi. 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti bano balabika baliko obubbi obuwerako bwe bazze benyigiramu era ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.