Amawulire

Poliisi ekutte omukazi agambibwa okutta omwana we ow'emyaka 2 omulambo n'agusuula mu luzzi  e Kabaale

OMUKAZI agambibwa okutta omwana we ow'emyaka 2 , omulambo gwe n'agusuula mu luzzi, poliisi e Kabale emukutte.  

Poliisi ekutte omukazi agambibwa okutta omwana we ow'emyaka 2 omulambo n'agusuula mu luzzi  e Kabaale
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUKAZI agambibwa okutta omwana we ow'emyaka 2 , omulambo gwe n'agusuula mu luzzi, poliisi e Kabale emukutte.

Sylvia Akankwasa y'agambibwa okuba ng'abadde amaze ennaku , nga talina mwanawe ekiwalirizza abatuuze okumukunya n'okunoonya ne bazuula engoye ze mu kabuyonjo.

Kitegeezeddwa nti oluvannyuma ensonga bazitegeezezza ssentebe wa LC1 Stella Samaki  ne bazongerayo ku poliisi ne bakizuula oluvannyuma nti omwana yabadde amusse omulambo n'agusuula mu luzzi e Butobere.

Omwogezi wa poliisi e Kigezi , Elly Maate, agambye nti basobodde okunnyululayo omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Kabale ng'okubuuliriza kugenda mu maaso