ABANTU babiri bafudde, n'abalala basatu ne balumizibwa mu kabenje akagudde e Rubanda.
Akabenje, kabadde ku kyalo Nyakiharo mu muluka gw'e Bubare ku luguudo oluva e Kabale okudda e Kisolo mu disitulikiti y'e Rubanda, mmotoka nnamba UAJ 098V Corolla bwe zitomereganye n'endala HOWO nnamba RAH 802 Q/ RL 6749.
Abafudde, kuliko Faith Kiconco 20 ow'e Kamuserwa e Rubanda ne Alex Namukujije 33 nga w'eggwanga ly'e Rwanda.
Abalumiziddwa, ye Javira Mwesigwa 33 e Bugongii Upper e Kabale nga ye dereeva wa Corolla , n'abasajja abalala babiri abatwaliddwa mu ddwaliro e Kabale okufuna obujanjabi.
Omwogezi wa poliisi mu Kigezi, Elly Maate, agambye nti ekabenje kaaliba nga kaavudde ku dereeva wa HOWO. Okunoonyereza kugenda mu maaso.