Amawulire

Uganda ekuzizza olunaku lw'ekkaddiyizo

UGANDA yeegasse ku nsi yonna okujaguza olunaku lwa makaddiyizo olumanyiddwa nga International Museums day 2026  era nga ebijaguzo bino bibadde mu Kibuga kye Jinja ku Rugby Grounds ku mulamwa ogugamba nti  Museums Uniting the World .

Hon.Tom Butime ng'atuuse e Jinja
By: Godfrey Ssempijja, Journalist @New Vision

UGANDA yeegasse ku nsi yonna okujaguza olunaku lwa makaddiyizo olumanyiddwa nga International Museums day 2026  era nga ebijaguzo bino bibadde mu Kibuga kye Jinja ku Rugby Grounds ku mulamwa ogugamba nti  Museums Uniting the World.

Omukolo guno gwetabidwaako abakungu okuva mu gavumenti okuli Minister we byobulambuzi Hon Tom Butime  , abaana b'amasomero , kwosa n'abakulembeze okuva mu Kibuga Jinja.

Abaana nga basanyusa abagenyi ku mukolo e Jinja

Abaana nga basanyusa abagenyi ku mukolo e Jinja

Minister we byobulambuzi Hon Tom Butime asoose kulambuzibwa mudaala gye byamakaddiyizo n'ebirala.

Ono agambye nti gavumenti ekoze kyamaanyi okuteeka ssente mu nsonga y'okukuuma amakaddiyizo nga ezimba ebifo ebipya wamu n'okuddabiriza ebikadiye okuli n'okudabiriza olubiri lwa Mugaba  olusangibwa mu Ankole .

Ono agambye nti ekibuga kye Jinja kifo ekikunganya ebintu ebikwatagana ku makaddiyizi era nasaba okusigala nga bikuumibwa kwosa nokulongoosebwa bisobole okubeelawo .Ono asinzidde wano n'agamba eggwanga eligaana okukuuma abyafaayo 
lifiiriza abaana abato n'olwekyo Uganda elina okukuuma ebyafaayo ate n'abato  abakubirizza okubyenyigiramu .

Hon.Tom Butime nga yakatuuka e Jinja

Hon.Tom Butime nga yakatuuka e Jinja

Jackline Besigye Nyirakiza akulira amakaddiyizo mugwanga agambye nti kirungi nnyo okukuuma amakaddiyizo kubanga biyamba abantu okuba nebyafaayo kwosa nokubimanya .

Ono agambye nti amakaddiyizo gakuyamba nnyo okukuuma n'okutumbula ebyobulambuzi mu gwanga n'olwekyo birina okukuumibwa .

Agenze mu maaso nti singa ebyobulambuzi bikuumibwa namakadiyizo kyakuyamba abantu okufuna ensimbi okuva mubwaavu . 

Assembyeyo nga agamba nti basobodde okuddabiriza amakaddiyizo manji.