Amawulire

ABASAJJA basatu abagambibwa okubba ennyana y'ente n'ebintu ebirala okuva ku mmotoka, bakwatiddwa poliisi e Rubanda

ABASAJJA basatu abagambibwa okubba ennyana y'ente n'ebintu ebirala okuva ku mmotoka, bakwatiddwa poliisi e Rubanda.

ABASAJJA basatu abagambibwa okubba ennyana y'ente n'ebintu ebirala okuva ku mmotoka, bakwatiddwa poliisi e Rubanda
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABASAJJA basatu abagambibwa okubba ennyana y'ente n'ebintu ebirala okuva ku mmotoka, bakwatiddwa poliisi e Rubanda.

Obunyazi buno, bubadde mu katale k'e Karukara mu kabuga k'e Hamirwa ku luguudo oluva e Kabale okudda e Kisoro.

Abakwatiddwa, kuliko Ivan Arigye 20 ow'e Rugarama Kakore, Dancan Niwaha ow'e Kamuterere ne Justus Muyorere ow'e Kitawulira .

Kidiridde ababbi okusalako emmotoka ne batema abamu ku bagibaddeko ne babba ebintu  kwe kubalondoola kyokka nga badduse.

Kigambibwa nti  mu kabuga k'e  Hakakondogoro poliisi, kwe kusanga abantu nga batambuliza ennyana ku pikipiki UEV 958H bajaj nti kyokka ne bagisuulawo ne badduka naye oluvannyuma poliisi n'ekwatako basatu okusinziira ku Elly Maate omwogezi wa poliisi mu Kigezi.