Poliisi e Mukono eri mu kuyigga abazigu abalumbye essundiro ly'amafuta n'abatusaako obulabe nabba ssente.
Bibadde ku ssundiro ly'amafuta erya Stabex e Kisoga mu disitulikiti y'e Mukono, abazigu bwe balumbye ekifo ekyo ku ssaawa nga Mwenda nga bukya ne babatusaako ebisago ebyamaanyi ne babba shs 350,000/ ne babulawo.
Poliisi etutte embwa ekonga olusi era n'ebatwala mu kifo we basudde akakumbi akayembisiddwa okukuba basirikale ku mitwe.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti abasirikale bombi bawereddwa ebitanda mu ddwaaliro e Mulago ng'omuyiggo gugenda mu maaso