OMUYIMBI Catherine Kusasiira acamudde abatuuze na abakulembeze be Nansana mu kulayiza bakkansala abakiika ku divizoni ye Nansana ku ggombolola e Nabweru.

Catherine Kusasira ng'asanyusa abantu
kusasira akulembeddemu ssentebe wa divizoni eno Mugabi Sam wakati mu kuyimbira abawagizi baabwe ennyimba ezibaleese nga benuguuna n'okusaba anko mu kubebaaza okuyiira NRM obubulu mu kulonda okwenjawulo okwabayingiza mu bifo by'obukulembeze mu munisipaali ye Nansana.

Sam Mugabi ng'akuba ebirayiro
Ye RDC wa Nansana Charles Lwanga yakutiidde bakkansala abakubye ebilayiro okussa ebbali enjawukana z'ebyobufuzi wabula bafeeyo okulondoola pulojekiti za gavumenti ssaako okwerinda ekirwadde kya Ebola ekyabaluseewo mu bitundu ebimu.

Isaac Kasule ng'awanise omuggo
Mugabi Sam eyabadde omucamufu yayisizza ebivulu okwetoloola Nansana bwatyo n'ategeeza nga bwagenda okufuba okulaba nga Nansana efuna essomero lya siniiya elya Gavumenti kiyambeko okukwatizako abazadde bamufuna mpola okuwereera abaana babwe