PULEZIDENTI Museveni akubirizza abavubuka okwettanira ebyobulimi n’obulunzi mu kifo ky’okugenda ebweru okukozesebwa.
Byabadde mu bubaka bwe yatisse omuwandiisi ow’enkalakkalira wa minisitule
y’ekikula ky’abantu, abakozi n’enkulaakulana y’eggwanga, grey Kibenge ku mukolo ogw’okujaguza emyaka 18, egya Youth Platform Africa (YPA) ey’abalunzi b’embuzi.
Eno yatandikibwawo abavubuka n’ekigendererwa eky’okutondawo emirimu n’okulwanyisa obwavu ng’omukolo gwabadde ku kisaawe e Kololo. Yagambye nti abavubuka gwe musingi gw’enkulaakulana ssinga beenyigira mu mirimu egivaamu ssente okuli obulimi, obulunzi, tekinologiya n’obuyiiya. Yatenderezza abavubuka ba YPA nti, kabonero akalaga nti basobola okukulaakulanya Uganda nga bakozesa ebintu ebibeetoolodde.
“Ebiruubirirwa bya YPA bikwatagana n’ebiruubirirwa bya NRM okuli ennyingo
y’okukyusa ebyenfuna bya Bannayuganda, okuzimba amakolero n’okutumbula ebyenfuna by’abantu,’’ Museveni bwe yategeezezza.
Akulira YPA, Obed Ben, yategeezezza nti baatandika ne bammemba 21, kati balina
18,000, nga baluubirira kuweza akakadde kalamba mu 2030. N’agamba nti, balina
embuzi 157,000 ku ffaamu zaabwe, yiika za kasooli 7,800 n’emizinga gy’enjuki 15,000,
ng’obuweereza bwabwe buli mu mawanga 16. Akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku bamusigansimbi mu maka g’Obwapulezidenti era omuyima wa YPA, Col. Edith Nakalema yagambye nti, YPA ekyusizza obulamu bw’abavubuka.
Eyabadde omwogezi ow’enjawulo ku mukolo guno omukulembeze ow’ennono okuva e Zambia, Chief Chamuka VI, yasabye bakulembeze banne ab’ennono ne Gavumenti z’amawanga ga Africa okuwa abavubuka omwagaanya okukozesa ettaka awatali bukwakkulizo batondewo emirimu, ensi ekule.