ABALIMI ne Bannayuganda abasinga obungi bakkiriza nti, amakungula gaabwe okusobola okuyaayaanirwa obulungi naddala ku katale akali mu mawanga g’Abazungu, balina okuba nga bettanidde ennima ey’obutonde era nga byonna bye bakozesezza mu nnimiro okuli ebigimusa n’eddagala bigwa butereevu mu nnima eno.
Kyokka okusobola okugitumbula n’abagyettanira okufuna amakungula agamala, walina okubaawo abakugu mu kukola eddagala n’ebigimusa abalimi bye balina okweyambisa. Ate balina okufuna ne bayinvesita ne bamalirira okuteeka ssente mu buyiiya obuba buliwo mu nnima eno, olwo ebigimusa oba eddagala ebiba bikoleddwa ne bifulumizibwa mu bungi okusobola okweyambisibwa abalimi. Enkola eno y’egenda mu maaso ku Kayoge Eco Farm esangibwa ku kyalo Buzzi mu muluka gw’e Namulanda, mu Town Council ya Kajjansi mu Wakiso. Nnannyini ffaamu eno ye, Edward Kayondo era agirundirako obumyu obusukka mu 20,000. Ekigendererwa kye ekikulu mu kubulunda si kutunda oba kubulya wabula okufunamu musulo gw’akozesa okukola ekigimusa eky’obutonde ekimanyiddwa nga Gardener’s Gold ky’afulumya. Kayondo takoma ku kulunda bumyu bwokka wabula alima ne Dragon Fruit ku yiika nnya, ate n’okulima ebibala era mulimi wa maanyi mu kitundu.
ENTANDIKWA
Kayondo agamba nti: Okuvan obuto nga ndaba bakadde bange balima era ne bafuna amakungula amalungi kyokka nga tebakozesa ddagala zzungu wadde ebigimusa ebitali bya butonde.

Edward Kayondo (ku ddyo) ng’alaga omusulo gw’obumyu gwe baterese okukolamu ekigimusa. Ku kkono ye, Michael Kaggwa.
OBUMYU TUBULABIRIRA MU NGERI YA BUTONDE
Mike Mutyaba, musawo wa bisolo era akulira abalabirira obumyu agamba nti: Ekifuula obumyu bwaffe obw’enjawulo kwe kuba ng’okuva mu ntandikwa, tubulabirira mu ngeri ya butonde okutuuka lwe butuwa omusulo gwe tutabula mu bintu ebirala era eby’obutonde mwe tukola ekigimusa.
Ekimu ku bituyamba okukuuma obumyu bwaffe mu mbeera ey’obutondey’engeri gye tubuliisaamu. Tubuliisa omuddo ogw’obutonde era ogujjudde eddagala gamba ng’ekigagi, loozimeere, ebisagazi, ssere n’emirala era mu mbeera eno kizibu okusanga wadde akamyu kaffe kamu bwe kati nga kaalwadde.
Tulina n’ennambika y’emmere ey’ekikugu eya buli lunaku gye tuliisaamu obumyu bwaffe, okugeza ku Mmande bwe buba bwa kulya loozimeere oba nessere, ate toyinza kusanga nga tubuwadde kigagi. Kino kikulu mu kubukuuma nga bulamu.
Okukuuma ebitabo tetukoma kw’ebyo byokka ebiraga ssente ze tuyingizza ne ze tufulumizza, tukuuma n’ebyo ebiraga engeri obumyu gye buwaseemu n’engeri
gye buzaaliddwa. Kino kituyamba okubutangira okwezaalamu ekikuuma endyo zaffe nga ngumu. Ggwe ayagala okulunda obumyu, kikulu okumanya olulyo lw’ogenda okulunda, endiisa yaabwo ate n’okukuuma obuyonjo. Okubuwa ku muddo omukalu nakyo kirungi naddala mu budde bw’ekiro era ffe tukikola wano ku ffaamu.
TWAFUNA OLUKUSA OKUVA MU GAVUMENTI OKUKOLA EKIGIMUSA
Michael Kaggwa, akulira okukola ekigimusa kya Gardener’s Gold agamba nti: Okutwalizan awamu ekigendererwa kyaffe mu kulunda obumyu tukifunye kuba ekigimusa tukikola ate mu bungi. Mu kiseera kino tulina obusobozi okufulumya liita z’ekigimusa kino mu liita ezisukka mu 200 olunaku ate nga kya mutindo kuba ne minisitule za Gavumenti zonna ezikwatibwako zaatuwa layisinsi okukikola. Eky’essanyu kwe kuba nti, ne Bannayuganda abakyettanira bakyenyumirizaamu kuba kibayambye okufuna amakungula am-alungi okuva mu birime byabwe omuli ennyaanya, emmwaanyi, kasooli, n’ebirala. Okusoomoozebwa kwe tukyasanga kwe kuba nti, Bannayuganda bangi bakyalemedde mu nkola y’okukozesa eddagala n’ebigimusa ebitali bya butonde ate ng’okunoonyereza kulaga nti, si birungi eri ettaka lyaffe wamu n’obulamu bwaffe.
TUKOZESA ABAKOZI ABAWERAKO
Edward Mutebi nga y’omu ku baddukanya ffaamu eno agamba nti: Okubaawo kwa ffaamu yaffe kugasa abantu bangi omuli abakozi abakola mu bumyu, mu kigimusa ate n’abalabirira ennimiro.
Bano basasulwa bulungi era basanyufu. Waliwo n’abantu abalala bangi abajja okusoma naddala ennunda y’obumyu ey’obutonde ate abandi nga baagala okuyiga ennima ya Dragon Fruit kye nkakasa nti, bafunyeemu. Ebyokwerinda nabyo tubissaako essira er tulina kkamera eziraba ffaamu yonna newankubadde ng’eri ku yiika ezisoba mu 10. Mu kiseera kino tufuna omusulo gw’obumyu liita 200 olunaku naye ekigendererwa kyaffe
kya kufuna liita 1,000 mu lunaku lumu ate kye tukakasa nga tujja kukituukako.