PULEZIDENTI Museveni alabudde bannayuganda okwewala okwekwata mu ngalo basobole okulwanyisa okusasaana kw’obulwadde bwa Ebola mu ggwanga.
“Tokwata muntu yenna mu ngalo era tewali nsonga lwaki omukwatamu akusiige obulwadde .
Ebola mwangu okulwanyisa kubanga omufuna mukwataganye n’omulwadde okusinga obulwadde nga Corona 19 obutambulira mu mpeewo nga twasobola okubulwanyisa ne tubutuka ku nfette “ Museveni bweyagambye ,

Abazinyi nga basanyusa abagenyi
Museveni yagambye nti katandiike n’akubayigiriza ssaayansi akwata ku ngeri gyetusobola okwewala obulwadde bwa Ebola okusaasana kubanga bangi bali mu kutya okwamaanyi olw’onbulwadde buno .
Obulwadde buno bwobujjanjaba amangu buwoona kubanga omusujja omungi n’okuggwamu amazzi bye biviraako omulwadde wabwo okufa kyokka bino abasawo basobola okubijjanjaba omulwadde nawona .
Yagambye nti Ebola mwangu okulwanyisa singa ogoberera amateeka n’obukwakulizo obuyambako mu kubulwanyisa nga tokwata mu ngalo zamulala gattako okugoberera amateeka ng’okunaaba mu ngalo
Yabyogedde bweyabadde aggulawo olukungana lwe by’obulambuzi ku Speke Resort e Munyonyo wiiki ewedde
Yayongeddeko nti basisinkana olukiiko olukola ku kunoonyereza ku bulwadde bwa Ebola ne basalawo obutaggala nsalo za ggwanga lya Uganda ne DR Congo kubanga bamanyi eky’okukola mu kubulwanyisa .
Yayongeddeko nti tewali nsoga lwaki wabeerawo obunkenke mu ggwanga ku bulwadde bwa Ebola nga tebunaba kutuka mu ggwanga .
Yeemulugunyiriza ebitongole bye nsi yonna ebigaba amawulire agatali matuufu kumbeera y’obulwadde buno bwe bagambye nti buli mu ggwanga lino ne Congo ekireetawo okutya mu bantu .
Yayongeddeko nti waliwo akatale bannayuganda nabannaCongo gye basisinkana keyatiisiza okuggala kubanga kano kakunganya abantu abavudde mu bitundu ebyenjawulo akayinza okuletawo obuzibu mu bantu abakungana .
Pulezidenti Museveni yenyumiriza mu mbeera y’obudde bwa Uganda kubanga yanjawulo okugerageranya ne bitundu by’ensi yonna ebirala nti eggwanga lino liyitamu layini ya “ Equator “ eyamba okukuuma embeera y’obudde nga tenyoggoga kiyittiridde ne bbugumu okumalako omwaka .

Pulezidenti Museveni ng'ali n'abantu
Yayongeddeko embeera eno ogisana mu nsi endala bbiri zezirina omukisa ku mbeera y’obudde buno nga bwagenda ebweru awulira aliko basubwa mu ggwanga buli kiseera kyabeera taliwo wama mu ggwanga .
Yagambye nti Uganda ekulaakulanye nga yatuuka ku ddala lya middle Income nga ekigiyambye kwe kulima ebirime eby’okutunda , amakolero n’okuddukkanya emirimu emirala ..
Yaongeddeko nti bagenda kwongera ku bbanga lya Viza ezzibwa abakyala mu ggwanga okuva ku myezi esatu batandiike okugaba emyaka 2-3 nga ensi endala bwezikola .
Doreen Katusiime , omuwandiisi ow’enkalakalira mu minisitule ye by’obulambuzi yagambye nti obutebenkevu obuliwo ne mirembe egyaletebwa mu bitundu ebyali byatagulwa entalo kye kimu ku biviriddeko enkulaakulana mu by’obulambuzi . Yayongeddeko nti eggwanga lyaffe liraze obuvunanyizibwa mu kulwanyisa enddwadde ezenjawulo omuli Covd 19 , Ebola nakawuka akalwaza Mukenenya ekiretedde okuliyimusa ku mutendera gw’ensi yonna n’okwongera eby’obulambuzi ne bayinvesita mu ggwanga . Yayongeddeko enkulaakulaana ye nguudo abalambuzi mwe bayita okugenda mu bifo bye bagala okulambula nakyo kireesewo enkulaakulaana mu bitundu
Julian Kaggwa akulira ekitongole kya ekivunanyizibwa ku by’obulambuzi ekya Uganda Tourism Board (UTB) yasimye pulezidenti Museveni okuwagira ekitongole kino ekireresewo enkyukakyuka mu by’obulambuzi mu ggwanga
Hoareau Kakooza nga yakulira akakiiko akafuzi akavunannyizibwa ku byobulambuzi aka Uganda Tourism Board (UTB) yagambye yasimye nti bajeti ye kitongole kyabwe yeyongera ebitundutundu 12% nga kigenda okubawa enkizo okwongera okulaakulanya eby’obulambuzi
Yayongedeko nti omuwendo gwa balambuzi abavadde mumawaqnga ge bulaya gweyongedde era nga basubira okukubisamu mu kiseera kya AFCON .
Yoga Biriggwa nga ye pulezidenti we kibiina ekigatta abaddukkanya eby’obulambuzi mu ggwanga ekya Association of Uganda Tourism Association yasimye pulezidenti Museveni kuleetawo emirembe n’okwerinda okulungi mu ggwanga