Amawulire

Unicef evuddeyo ku Ebola

EKITONGOLE ky’ensi yonna ekivunaanyizibwa ku baana ekya Unicef kyegasse ku Gavumenti okulwanyisa ekirwadde ky’Ebola mu ggwanga nga kyaguddewo ebifo eby’enjawulo mu disitulikiti 37 we bakeberera abantu.

Unicef evuddeyo ku Ebola
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EKITONGOLE ky’ensi yonna ekivunaanyizibwa ku baana ekya Unicef kyegasse ku Gavumenti okulwanyisa ekirwadde ky’Ebola mu ggwanga nga kyaguddewo ebifo eby’enjawulo mu disitulikiti 37 we bakeberera abantu.
Bino byayogeddwa akulira Unicef mu Uganda, Dr. Robin Nandy ku mukolo ogw’okutongoza enteekateeka z’ebigenda okukolebwa ekitongole kino mu nteekateeka nnamutaayiika eya 2026–2030 ku kitebe kyabwe e Mbuya.
Nandy yagambye nti, UNICEF kye kimu ku bitongole ebyesowoddeyo okukwatizaako Gavumenti mu kulwanyisa Ebola naddala mu bitundu ebisinga okubeera ku mwanjo gw’okufuna ekirwadde kino nga bataddewo ebifo awanaabirwa engalo, okusomesa abantu engeri y’okwetangira n’ebirala.
Kuno bagasseeko okuwagira abasawo b’oku byalo n’okubangula ku ngeri y’okukwatamu abazuuliddwaamu ekirwadde ky’Ebola.
“Essira tulitadde mu disitulikiti 37 okuli Kampala n’ezo ezisalagana n’ensalo ya Congo’’ Dr Nandy bwe yategeezezza.
Dr. Nandy yagambye nti ekiseera kituuse amawanga g’Africa okulowooza ku ngeri gye galina okweyimirizaawo kubanga tegakyasobola kuyimirirawo ku bavujjirizi okuva mu mawanga g’Abazungu.
Yagambye nti, okubalukawo kwa Ebola n’engeri gy’akwatiddwaamu kabonero akalaga nti Uganda emaliridde okulwanyisa endwadde enkambwe ezibalukawo.
Omwogezi wa Unicef, Catherine Ntabadde yategeezezza nti mu myaka gino etaano, essira baakuliteeka ku nnyingo nnya okuli okulwanyisa abaana abafuna embuto nga tebanneetuuka, okulwanyisa endya embi mu