Amawulire

Bbulooka bamuttidde ku ttaka eririko enkaayana e Kigoogwa

POLIISI y’e Matugga enoonyereza ku batuuze abaatwalidde amateeka mu ngalo ne bakuba babbulooka b’ettaka basatu omu n’afiirawo n’abalala ne bafa nga baakatuusibwamu ddwaaliro e Mulago.

Amaka agaavuddeko babbulooka okuttibwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

POLIISI y’e Matugga enoonyereza ku batuuze abaatwalidde amateeka mu ngalo ne bakuba babbulooka b’ettaka basatu omu n’afiirawo n’abalala ne bafa nga baakatuusibwa
mu ddwaaliro e Mulago.
Bano baabadde bagenze okulambula ettaka eririko enkaayana kyokka bwe baatuuse eyo ate ne bakoona ennyumba ebaddeko. Ekikangabwa kino kyabadde ku kyalo Kigoogwa ekisangibwa mu divizoni y’e Gombe mu Munisipaali y’e Nansana ba bbulooka b’ettaka basatu baabadde mu mmotoka ekika kya Mark II (UAP 343W) nga yabaddeko ebigambo bya Benson Property Consultant. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Racheal Kawala yagambye nti, abantu bano okutuuka okulumbibwa ekibinja ky’abatuuze baabadde bagenze okulambula ettaka eririko enkaayana mu kitundu kino nga baagenze ne bakanyama ne batandika okukoona ennyumba ebaddeko.
Kawala yannyonnyodde nti, wakati mu kukoona ennyumba kigambibwa nti, baatandise okwewerera abatuuze ne baziba n’ekkubo ekyavuddeko abatuuze okwekyawa ne babalumba okukkakkana nga bakutteko basatu ne babakuba omu n’afiirawo n’abalala ne bafa nga baakatuusibwa mu ddwaaliro e Mulago.Kawala yagambye nti, abantu
bano nga poliisi ekyanoonyerezza ebibakwatako kuba tebamanyiddwa ku kitundu ate
nga tebaabadde na biboogerako, bakyanoonyereza n’abatuuze abaatwalidde amateeka mu ngalo.
Nga poliisi yasobodde okukwata omuntu omu abayambeko mu kunoonyereza okumanya abaatwalidde amateeka mu ngalo. Wabula Godfrey Ssenyonjo Muwanga, omu ku bannannyini nnyumba eyakooneddwa yagambye nti, amaka gano gaali ga kitaawe
Christopher Byekwaso era nga
ebbanga lyonna babaddewo nga tebalina buzibu. Muwanga yagambye nti, obuzibu buno buva ku muzzukulu waabwe eyategeerekeseeko erya Namusisi agenda mu maaso n’okubatulugunya nga ye yeekobaanan n’abantu ssekinnoomu okutunda ettaka lino.
Yagambye nti, ennyumba enon guno mulundi gwakuna ngab bagimenya nga babadde bajja mu kiro, kyokka ku luno bazze misana ne bagikoona abantu kwe kwekyawa, era yakubiddwa ssimu nga bamutegeeza nti, amaka bagamenya.
Yannyonnyodde nti, ebbanga lyonna bazze beekubira enduulu ku poliisi y’e Matugga kyokka tewali kye bayambiddwa ku nsonga zino kwe kusaba RPC okuyingira mu nsonga zino