OMUKYALA eyali asazeewo okwesuula mu mmotoka n'omwana we bafe oluvannyuma lwa NEMA okumusendera ennyumba ye eyali mu Lubigi omuzirakisa amudduukiridde.
Nuliat Nakanaabi yeyadduukiriddwa Omugagga Deus Ssali ng'ono yenannyini kampuni eyitibwa Bassali Property Consultants esangibwa ku kyalo Jandira Kyasa mu Town Council ye Kayabwe mu District ye Mpigi oluvannyuma lw'okumulaba ku Bukedde T v ng'alaajana.
Omugagga amuwadde Poloti ya 50-100 ng'amuzimbiddemu n'ennyumba ya bisenge 3, era wakati mu ssanyu omukyala ono yeebazizza nnyo aba Bukedde Tv olw'okumuteeka ku ttivvi omugagga n'amulaba nga kati afunye ow'okubeera n'abaana be, ate ye omwana eyamutaasa obuteesuula mu mmotoka omugagga amuwadde akagaali k'abadde ayagala,

Nakanaabi Nuliat mu Poloti gye bamuwadde esangibwa e Jandira mu Disitulikiti y'e Mpigi
Plot esangibwa ku kyalo Jandira Kyasa,mu Town Council ye Kayabwe mu District ye Mpigi.

Omugagga Deus Ssali nga akwasa Nakanaabi Nuliat endagaano z'ekifo ne nnyumba by'amuwadde
BukeddeTv ezze ekulaga amawulire ng'ekitongole kya NEMA ng'ekola ekikwekweto ky'okusenda amayumba g'abo abazze beesenza mu lutobazi lw'omu Lubigi e Kawaala nga muno mwe mwagendera ne nnyumba y'omukyala Nakanaabi Nuliat ekyamuwalirizza okwagala okwesuula mu mmotoka n'omwana we ow'emyaka 7.