Poliisi ekutte abantu abalala basatu abagambibwa okwenyigira mu bubbi bwa ssente ezisoba mu bukadde 45 ku bitaala e Nsambya.
Kati abakakwatibwa bali bataano, nga basooka kukwata abalala babiri okuli Yudah Kamoga amanyiddwa nga Sparta ne Arnold Kayabula omuvuzi wa boda boda.
Abakwatiddwa abalala, kuliko Farouk Atusasiirwe amanyiddwa nga Gaza ow'e Nansana, Ibra Ssemakula amanyiddwa nga Bugalo Mwenda ow'e Bulenga ne Alex Matovu ow'e Kazo.
Kidiridde ababbi ku pikipiki nga 6 okusalako abakozi b'ekibanda kya ssente ekya Riverside Forex Bureau e Bunga ne babanyagako ssente ezisoba mu bukadde 45 omuli n'okubakuba ensambaggere n'ebikonde.
Pikipiki eziwerako ezigambibwa okweyambisibwa mu bunyazi buno, zikwatiddwa ng'omuyiggo gugenda mu maaso, okusinziira ku amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire.