Amawulire

Poliisi e Kiboga eri mu kuyigga omukazi aggyemu olubuto omwana n'amusuula mu kabuyonjo

Poliisi e Kiboga eri mu kuyigga omukazi aggyemu olubuto , omwana n'amusuula mu kabuyonjo y'omutuuze mu kitundu.

Poliisi e Kiboga eri mu kuyigga omukazi aggyemu olubuto omwana n'amusuula mu kabuyonjo
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi e Kiboga eri mu kuyigga omukazi aggyemu olubuto , omwana n'amusuula mu kabuyonjo y'omutuuze mu kitundu.

Mu ngeri y'emu era bayigga abayinza okuba nga bamuyambyeko okuluggyamu omwana ne bamusuula mu kabuyonjo.

Omwana ono omuwala, azuuliddwa mu kabuyonjo y'omutuuze Ibrahim Wasswa omutuuze w'e Kajjere e Kiboga era nga poliisi ekutte Sarah Nampijja 17  abadde n'olubuto kyokka nga kati talulirana.

Kitegeezeddwa nti omwana ono akkiriza okujjamu olubuto nti ng'ayambibwako nnyina Jesca Nakibuule , muganda we Justine Nalugo n'omusawo agambibwa okumuwa eddagala eryalujjeemu.

Abatuuze b'e Kajjere bagamba nti nnyina w'omwana Jesca Nakibuule , yali ayagalana ne Brian Bakuza mbu eyamusuulawo ate n'abakana ne muwalawe Nampijja mbu era okuva olwo babadde ku mbiranye bwe yafuna olubuto.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti babayigga okuyambako mu kunoonyereza