KIZZAAKABENJE ddekabusa kagudde ku luguudo oluva e Masaka okud-da e Kyotera, ttuleera y’amafuta bw’esaabadde ttakisi ebadde eyimiridde ku kkubo okugg-yamu abasaabaze, okukkakkana ng’abantu bataano bafiiriddewo!
Akabenje kano kaagudde ku kyalo Bootera wakati wa Kaabuwoko-Bukunda ne Kaliisizo, ttuleera nnamba T 813 DYP bwe yasaabadde ttakisi nnamba UBH 378W eyabadde eva e Kam-pala ng’eyimiridde ku siteegi e Bbootera okuggyamu abasaabaze.
Okusinziira ku muwala we, Praxeda Nakanwagi omu ku baasi-mattuse n’ebisago ng’ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya Gavumenti e Kaliisizo, yategeezezza nti babeera ku kyalo Lusozi e Kannabulemu mu ggom-bololola y’e Kyebe.Abalala abaafudde kuliko Resty Naluwooza (40), abadde amanyid-dwa nga Maama Sam ow’e Lusaka -Kaliisizo nga kigambibwa nti ono yakedde mu kibuga Masaka okubaako by’asuubula era okusin-ziira ku bba Edward Mujjuzi, mmotoka yagirinnyidde Masaka oluvannyuma lw’okusuubula!
Omulala eyafudde ye Maxy Na-lubega amanyiddwa nga Maama Robert ng’ono abadde atunda dduuka lya ngoye mu kibuga Kaliisizo nga n’ono kigambibwa yakedde kusuubula ngoye mu kibuga Masaka ng’abadde abulayo mmayiro bbiri zokka okuyingira Kaliisizo.