TEHRAN, Iran
AMAFUTA ga Uganda agayita mu kagolomolo ka Iran gali mu kkubo gatuuka essaawa yonna.
Endagaano ya America ne Iran egenda okuteekebwako emikono enkya ku Lwokutaano okukomya olutalo, ewadde essuubi ku bbeeyi y’amafuta bwe kyakakasiddwa nti akagolomolo ka Strait of Hormuz we gayita, kagguddwa. Okuggulwa kwako kussizza ku bbeeyi y’amafuta naddala Pulezidenti Donald Trump eyabadde mu kibuga Paris ekya Bufaransa mu lukiiko lwa G7 olugatta amawanga gannaggwadda, bwe yaduumidde abagoba b’emmeeri bazikoleeze bagolomokere mu kagolomolo okugatwala mu butale.
Ebyo by’ebimu ku byagobereddwa amakampuni g’amafuta mu nsi yonna bwe gaafuny essuubi, bbeeyi yaago n’eddamu okukka okuva ku Mmande bwe yabadde ku ddoola 90 ekipipa n’edda ku ddoola 80.
Ng’olutalo terunnatandika, ekipika kyali kigula wakati wa ddoola 60 ne 70 oba 75. Abagasuubula we bagatuusiza mu mawanga nga Uganda, emisoso ne yinsuwalensi z’emmeeri kwe gatambulizibwa zigalinnyisa ku bbeeyi okusinga ku eyo gye baba baaguliddeko.
Ebbeeyi yaago era esinziira ku makampuni agagasuubula. Bwe gaba geekengedde ebizibu ng’olutalo lwa Iran bwe lubadde, bwe balaba nga gagenda kubaM mazibu okufuna, ebbeeyi bagirinnyisirizaawoN olw’ebbula lyago lye baba balengedde so ng’ate bwe balaba ng’embeera enaagakkiriza okulabika, ng’ebbeeyi yaago ekkirawo.
Amafuta ga Uganda agasinga okuyita mu kagolomolo, gava Saudi Arabia ne UAE.Bukedde bwe yatuukiridde omwogezi w’ekitongole kya Uganda ekikola ku by’abafuta ekya UNOC, Tony Otoa, yategeezezza nga bwe waliwo essuubi amafuta mangi bwe gagenda okweyongera okutuuka mu ggwanga olw’akagolomolo okuggulwa.
Kyokka yalabudde nti ensonga y’ebbeeyi okukka kiyinza obutabeera kya mbagirawo kubanga ebbeeyi y’amafuta tesalibwawo nsi emu, kkampuni emu oba kitongole, kubanga ensonga eyo ya nsi yonna.
Agamba nti ebintu bingi ebiba byetaagisa okutunulamu omuli n’obudde amafuta bwe gamala okutuuka mu butale okubumatiza. Mu kusoooka, abakugu abalala mu by’amafuta baabadde balabudde nti ebbeeyi yaago esobola okutandika okukka mu
wiiki nga ssatu nga gatandise okutuuka mu mawanga agali okumpimpi n’akagolomolo omuli aga Bulaaya. Gasobola okumala emyezi nga esatu okutuuka mu mawanga gonna okubuna kubanga emmeeri nazo zitambula kasoobo nga n’emisoso egizitambuza mingi.
Ebbeeyi okukkira ddala okudda ku mutendera kwe yali ng’olutalo lutandika nga 28 February omwaka guno, kisobola okutwala wakati w’emyezi omukaaga N n’omwaka.
Otoa yalabudde nti, amafuta ga Uganda agabadde gava mu UAE, galina obuzibu kubanga ogumu ku myalo gy’eggwanga eryo ogwa Fujairah gwakubwako ekitundu mu lutalo.
Ekyo kitegeeza gulina okusooka okuddaabirizibwa okusobola okuddamu okukola nga bwe gwali, nakyo ekyetaagisa obudde. Amawulire ga NBC News nago gaagumizza ensi yonna okwongera okugumiikirizaamu bbeeyi y’amafuta ekke kubanga kitwala ku kadde okumalawo emiziziko egibadde gigalemesa okutambuzibwa wakati mu lutalo