POLIISI ekutte abasajja babiri abagambibwaokubaako kye bamanyiku bubbi bwa ssente obwabadde e Nsambya ku bitaala.
Obubbi buno bwabaddewo ku ssaawa 5:30 ez’emisana ku bitaala e Nsambya, ababbi abaabadde batambulira ku bodaboda musanvu bwe baasazeeko maneja wa Riverside
Forex Bureau e Bbunga mu munisipaali y'e Makindye ne bamunyagako obukadde 45 ne bamuleka ng'apooca na bisago. Bino byabaddewo nga May 6, 2026 ababbi bwe baazingizza maneja wa Riverside Forex Bureau David Mubiru Galiwango ne munne
bwe baabadde bava okutunda doola za America ezaavuddemu obukadde 45 obwa Uganda.
Baabadde bava e Kampala nga badda e Bunga ku ofiisi zaabwe bodaboda musanvu ne zibasalako abaazibaddeko ne bazibuukako ne babakuba ne babatuusaako ebisago ne munne Ronald Mutebi eyabadde aweese ensawo era nga y’avuga pikipiki.
Akatambi akaafulumye wiiki ewedde, kaalaze bodaboda nga ziweeseeko abavubuka, bwe zaatuuse
ku bitaala awaabadde Mubiru ne Mutebi nga balinze ebitala okuta ne babayiikira ne batandika okubakuba.
Baabasise ku pikipiki ne babakuba n’okubasamba ne babasikako ensawo omwabadde ssente ne babulawo.
Bagguddewo omusango ku poliisi e Kabalagala ku ffayiro nnamba SD REF: 87/06/05/26.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti, bakutte pikipiki nnamba UMA 655GK naye nga kirabika ennamba njingirire okubuza obujulizi.
Baakutte Yudah Kamoga eyeeyita Sparta ne Arnold Kayabula omuvuzi wa boda. Pikipiki endala, nnamba UMA 602KK nayo baagizudde era ng'omuyiggo gw'abalala, gugenda mu maaso.
BAKUTTE ABABBA BODABODA
Mu ngeri y'emu, poliisi ekutte abavubuka basatu abagambibwa okwenyigira mu bubbi bwa bodaboda.
Abakwate kuliko; Sharif Sserunkuuma, Bashir Kato ne Jonathan Ssegawa. Kigambibwa nti, bano ne bannaabwe abatannakwatibwa, bavuga mmotoka ne batomera aba bodaboda bwe bagwa nga bababbako pikipiki n’okubatemaatema n’ebijambiya.
Obunyazi babadde babukolera e Nsangi-Nabaziza, Nakawuka Road e Bulwanyi, oluguudo lw'e Ntebe n’olw'e Busaabala. Babeera mu bibinja bya bantu bataano mu mmotoka za Mark X. Ku Lwomukaaga, abakwate baatutte poliisi mu bifo gye babadde bateegera aba bodaboda ng'ebisinga tebiriimu bantu. Akulira poliisi mu Kampala South, Rogers Seguya n'akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango mu Kampala South D/ SSP Arthur Twinamasiko, baategeezezza nti, bano baakabba pikipiki
zisoba mu 100.
BAKUTTE TTAKISI MWE BABBIRA ABASAABAZE
Ku Lwomukaaga, poliisi yakutte ttakisi nnamba UAW 401G ebadde yeeyambisibwa ababbi ne banyaga abasaabaze. Kiddiridde poliisi okukola ekikwekweto oluvannyuma
lw’okufuna okwemulugunya okuva mu bantu ababbiddwa nga balinnye ttakisi eno.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emirirwano,n Rachael Kawala yagambye nti,
ttakisi eno esinga kukolera ku luguudo lwa Northern bypass, Najjeera, Namugongo
ne Kira. Yagambye nti, nga May 27, 2026, poliisi yafuna okwemulugunya okuva ew'omukyala eyali agirinnye okuva e Bukoto ne bamubbira e Kyebando nga baatwala ebintu ebyali mu nsawo n'essimu. Nga June 11, 2026 poliisi yafuna omusango okuva ew'omuyizi eyabbibwako essimu Samsung note 10 mu ttakisi y’emu e Najjeera. Ttakisi eno poliisi yagiyimiriza e Namugongo, ddereeva n’agaana, kwe kugigoba ne bagikwatira ku Northern bypass. Yabadde evugibwa Isma Muwonge ow'e Kyengera er baagisanzeemu ejjambiya.
EMMUNDU eyabula okuva ku mukuumi w'ekitongole ky'obwannannyini, bagisanze mu bisusunku by'ebijanjaalo mu nnimiro y'omutuuze e Kassanda, ng'ekwekeddwa. Emmundu eyo ekika kya UG PSO 564211567/15036, yabula nga May 20.
Yali ya mukuumi Anderson Baluku ow'ekitongole kya Neptune Guards Ltd eyali akuuma Shrida Investment Ltd mu Kiweesa Cell South ward mu divizoni y'e Ttamu e
Mityana. Oluvannyuma lw'okubula kw'emmundu eno, omuserikale ono baamuggalira era abadde ku alimanda. Omwogezi wa poliiisi mu Wamala, Lameck Kigozi, yagambye nti, ezuuliddwa nnyini nnimiro, Salim Matovu ng'anonye ebisusunku. Yagisanze ezingiddwa mu mpale enzirugavu, n'atemya ku poliiisi. Yatwaliddwa ku poliisi e Kira.
ABABBA KASITOMA WA CENTENARYv BANK
Ate abagambibwa okuteega kasitoma eyali ayingira mu bbanka ya Centenary n'ekisawo kya ssente ne bazimubbako poliisi yabakutte ne bavunaanibwa.
Bino byaliwo nga March 26, 2026 ku ttabi lya bbanka eno ku Nkurumah road, ababbi bwe baasonga ejjambiya mu Zalaika Hussein Gisma bwe yali ayingira bbanka, ne bamubbako obukwadde 620.
Abaakwatiddwa kuliko; Sharif Mulindwa,20, ow'e Kyebando Kabulengwa, Khalid Akidi nga yeeyita Bombe,22, ow'e Naluvule, Muhammad Kayiira,24, ow'e Kasekere e Kalungu, Tamim Kawaganya,20, ow'e Kireka – Bbira, Ivan Ongom, 18, ow'e Kireka mu munisipaali y'e Kira, Ismail Kasozi eyeeyita Maso,25, ow'e Kabunza e Matugga ne Ivan Gizamba,30, ow'e Nansana. Baavunaaniddwa mu kkooti ya Buganda Road mu maaso g’omulamuzi Winnie Nankya Jatiko omusango gw’okubbisa eryaanyi