TEHRAN, Iran
WE bwazibidde eggulo, nga America ne Iran bategeka kuteeka mikono ku ndagaanon ekomya olutalo, wadde ng’omukambwe w’eggwanga eryo alina kye yeekengedde mu ddiiru eyo.
Ensonga 14 ze zaabagiddwa ne zikkaanyizibwako amawanga gombi okukomya olutalo n kyokka ate baabadde bakyateesa, Yisirayiri n’emenya endagaano eyabadde erindiriddwa okuteekebwako emikono, bwe yakubye Lebanon kyokka ng’endagaano ekyo yakigaanye.
ENSONGA 14 MULIMU ZINO;
l America obutaddamu kulumba Iran.
l Iran obutaddamu kulumba mawanga ga muliraano, ebintu bya America n’amawanga amalala okuli ne Yisirayiri.
l Iran okukomya okuwagira abakambwe okuli aba Hezibollah,b Hamas n’abalala mu Buwalabu.
l Yisirayiri okukomya obulumbaganyi ku ggwanga lya Lebanon ly’evunaana okubudamya abakambwe ba Hezibollah
l Iran okuggula akagolomolo awayita amafuta.
l America okuggya nnatti ku Iran okuli ez’ebyobusuubuzi n’okuggala emyalo kw’esinziira okutunda amafuta gaayo.
l Eby’okuggula akagolomolo, Iran erina okuba ekumaze mu nnaku 30 zokka nga buli mmeeri na buli ayagala, ayitawo nga bw’ayagadde. l Mu nnaku 30 era, ne America
erina okuba ng'emalirizza okuggulira emyalo gya Iran gye yalemesa okukola ng’emmeeri zaayo ennwanyi ziremesa emmeeri z’amafuta g’eggwanga eryo. lAmerica erina okuggya amagye gaayo gonna ge yateeka okumpi ne Iran ate terina kuddamu kuteeka magye malala mu mawanga agaliraanyeewo.
l America okuggya envumbo ku buwumbi bwa ddoola 24 ze yasiban olwa Iran okwenyigira mu bikolwa eby’ekitujju.
l Obuwumbi 12 ku obwo 24, ze zijja okusooka okubaweebwa, obulala 12 bubaweebwe bwe banaaba bamaze okuddamu okutuula bateese ku ngeri Iran gy’egenda okuva ku by’okuweesa bbomu za nukiriya.
l Okuddamu okusisinkana kw’amawanga gombi, kwa kubaawo mu nnaku 60, baddemu okuteesa. Ku olwo, bagenda kuteesa ku bya nukiriya wa Iran balabe engeri America bw’eneemugyayo emusaanyeewo.
l Mu ndagaano eno gye baayise Memorandum of Understanding, ebagenda kuteesa ku nukiriya kubanga, yo egendereddwaamun kukomya lutalo, kiwe amawanga gonna agakoseddwa okudda engulu. Olwo okuteesa ku nukiriya kutandike mu bukkakkamu awatali kuneneng'ana.
l Iran wabula eyagala America ne banywanyi baayo gy’ebadde esinziira okugikuba, bagiwe obuwumbim 300 eza ddoola, zizzeewo ebyonooneddwa. l Ensonga zonna ezo zirina okugobererwa ekibiina ky’amawanga amagatte ziteekebwe mu kyapa nga ‘A united Nations Resolutions on the Iran conflict’, nga ziriko n’abalondoozi abeetegereza oba zigobererwa. Ku luno, Pulezidenti Donald Trump yasuze alagidde ddala nti, endagaano egenda kuteekebwako emikono kyokka mu Iran, waliyo abaabadde bakyagugubye nga kigambibwa nti, omukambwe Khamenei Mojtaba ne bannansi abamu si basanyufu. Nti beeraba ng’olutalo abaaluwangula nga tekyetaagisa kukola ndagaano.
Ate ye omwogezi wa Palamenti ya Iran, Mohammad Bagher Qalibaf yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa X ng’alabula nti, tasuubira nti America eneenywerera ku ndagaano eyo. Ekyo yakiggye ku kya Yisirayiri okukuba Lebanon eggulo kyokka ate nga lwe baabadde balina okuteeka emikono ku ndagaano eyo okusinziira ku mawulire ga Associated Press