Minisita w'entambula n'emirimu Fred Byamukama atandikidde mu ggiya abatabukidde ba contractors abakola oluguudo lwa Mityana-Mubende.

Minisita Byamukama ng'alambula oluguudo
Ono alambudde oluguudo luno ng'asookedde Mityana ng'adda e Mubende, Kalamba n'ebitundu ebirala oluguudo mweruyita.
Byamukama agugumbudde abakola oluguudo luno ng'agamba nti oluguudo luno lumaze emyaka munaana nga lukolebwa wabula nga teruggwa.

Minisita Byamukama ng'alambula oluguudo
Ono aliko abakozi mu kitongole ky'emirimu baanokoddeyo nga kigambibwa nti babadde balemesezza omulimu okumalirizibwa.
Ono abawadde emyezi munaana gyokka okumaliriza omulimu guno nga singa balemererwa bagobwa.

Minisita Byamukama nga bamulambuza oluguudo