Amawulire

Museveni alagidde banoonyereze ku buwumbi 231 ez’akasiimo k’abaazirwanako

PULEZIDENTI Museveni alagidde wabeerewo okunoonyereza ku ssente obuwumbi 231 ezaaweebwa abaazirwanako bakakase oba nga zaatuuka ku bantu abatuufu.

Pulezidenti Museveni ng’ali n’abamu ku baminisita, abaazirwanako ne bannaddiini mu maka g’Obwapulezidenti e Nakasero mu kukuza olunaku lw’abazira eggulo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

PULEZIDENTI Museveni alagidde wabeerewo okunoonyereza ku ssente obuwumbi 231 ezaaweebwa abaazirwanako bakakase oba nga zaatuuka ku bantu abatuufu.
Bwe yabadde ayogera ku bikujjuko by’olunaku lw’abazira olwabadde mu maka g’obwa Pulezidenti e Nakasero ogwetabyeko abantu ab’ekigero, Museveni yagambye nti Gavumenti yaakuddamu yeetegereze engeri ssente gye zaagabibwamu bazuule oba nga waliwo abataafuna.
Ensonga y’akasiimo k’abaazirwanako nayo egenda kutunuulirwa bazuule oba nga ssente ze baafuna zaabayamba okukyusa obulamu.
Akasiimo k’abaazirwanako kaagendererwamu okusiima abantu abaawagira olutalo lwa NRA n’ebibiina by’abayeekera ebirala ebyaleeta Gavumenti ya NRM mu buyinza mu 1986.
Buli ffamire ya mulwanyi yalina okufuna 5,000,000/- omwami n’omukyala ate abaali babayambako bafune 1,500,000/-.
Ekyewuunyisa Pulezidenti, kwe kuba nga buli kaseera wabeerawo abantu abavaayo nga beemulugunya nti tebaafuna kasiimo ate nga ssente zaasooka kubalirirwa bulungi.
Pulezidenti yalagidde ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi ekya State House Anti-Corruption Unit okwekenneenya engeri ssente gye zaasasulwa era bazuule oba nga zaatuuka wansi mu baazirwanako kuba ne bwe baba baafa, ffamire zaabwe zikyaliwo.
Museveni yagambye nti, ekiteekesaawo enteekateeka za Gavumenti ez’enjawulo, kwe kukyusa obulamu bw’abantu era tayagala kulaba ffamire za balwanyi nga bakyakaaba obwavu.
Pulezidenti yayogedde ku nsonga y’okuwa abalwanyi obujjanjabi n’agamba nti Gavumenti ebakubiriza okufuna obujjanjabi mu malwaliro ga Gavumenti basobole okukendeeza obungi bwa ssente ze bakozesa. Wadde ng’okuva emabega abamu abadde abajjanjabira mu malwaliro g’obwannannyini nga Nakasero Hospital, naye kitwala ssente nnyingi nga y’ensonga lwaki abamu yabasindika mu ddwaaliro lya Entebbe Grabe B.
Museveni yawagidde n’enteekateeka z’okugula ettaka eriweza yiika 60 e Migadde ku luguudo lw’e Bombo bazimbeko ekijjukizo ky’ebyafaayo. Abaazirwanako yabasabye batereeze SACCO yaabwe basobole okuyambibwa Gavumenti n’agamba nti ku mulundi guno agenda kubawa ensigo ez’obwereere ng’ayita mu ffaamu y’e Gomba, Kawumu ne Ngoma.
Yeebazizza abantu ba bulijjo n’abeenyigira mu lutalo obutereevu n’agamba nti bingi ebikoleddwa ng’okunyweza emirembe ng’ekisigalidde kwe kutereeza ebyenfuna. Minisita w’akanyigo ka Luwero-Rwenzori, Alice Kaboyo yayogedde ku kusoomoozebwa kw’abaazirwanako omuli obutaba na mayumba n’okulwawo okufuna akasiimo kaabwe. Ekirungi, Gavumenti yafuna enkalala z’abalwanyi abatuufu ezikakasiddwa nga mu kiseera kino balinze ssente batandike okusasulwa.
Eyayogedde ku lw’abaazirwanako, Kabandwa Kiggundu yeebazizza Pulezidenti olw’entegeka z’azze abateerawo okubakulaakulanya kyokka ne yeemulugunya olw’obuli bw’enguzi n’obutaweebwa bujjanjabi bulungi mu ddwaaliro lya Entebbe Grade B Hospital.