GAVUMENTI evuddeyo ne yeetondera Bannayuganda olw’amasannyalaze agavavaako kyokka ate era n’eyongera okubategeeza nti gakwongera okubeera nga gavaako mu bitundu by’eggwanga ebimu naddala mu Kampala.
Mu bino ebitundu kuliko layini eya Masanafu - Namungoona ne Busega, Mutundwe era ebyalo ebigenda okukosebwa kuliko ekya Masanafu, Kinonya, Bukulugi, Lugala, Lusaze, Kigobe, poliisi y’e Nateete, Nateete Kigagga, Kibumbiro, Kigwanya, Busega, Busega Samona factory, Nateete Church zooni n’ebirala.
Bino byayogeddwa Minista w’ebyamasannyalaze n’ebyobugagga eby’omu ttaka Dr. Monicah Musenero Masanza ng’ali n’abakungu b’ekitongole ekibunyisa amasannyalaze ekya UEDCL ku Media Center mu Kampala.
Yannyonnyodde nti ensonga egenda okubaggyisaako amasannyalaze gano kwe kwongera okugatereeza kubanga ebyuma ebitambuza amasannyalaze ebiriwo bibadde bibakaddiyeko ate era tebikyamala olw’amaka ageeyo-ngedde ne bizinensi ebikozesa amasannyalaze.
“ Abantu okubeera abangi ne binensi kitadde nnyo obuzito ku masannyalaze ne kireetera ne layini ezigatambuza okubeera nga tezikyasobola ne tulansifoma ezimu ne zitandika okuvangako,’’ Musenero bwe yagambye.
Yatenderezza ekitongole ky’amasannyalaze ekya UEDCL olw’omulimu gwe kikoze nga kyakayunga abantu obukadde 2 mw’emitwalo 70 ku masannyalaze era bongedde okugabunyisa okwetoolola eggwanga nga kati gali ku bitundu 62 ku buli 100 okuva lwe bajja mu mitambo.