Amawulire

UEDCL etandise okubikka waya zaayo okutaasa ebinyonyi ebibadde bikubwa amasannyalaze

AB’EKITONGOLE kya UEDCL batandise kaweefube ow’okulaba nga bateeka ebipiira ku waya z’amasannyalaze ng’emu ku nkola ey’okusobozesa okutaasa ebinyonyi ebisusse okukubwa amasannyalaze ne bifa naddala ku bikondo bya masannyalaze ebiriraanye kasasiro.

UEDCL etandise okubikka waya zaayo okutaasa ebinyonyi ebibadde bikubwa amasannyalaze
By: Wasswa Ssentongo, Journalist @New Vision

AB’EKITONGOLE kya UEDCL batandise kaweefube ow’okulaba nga bateeka ebipiira ku waya z’amasannyalaze ng’emu ku nkola ey’okusobozesa okutaasa ebinyonyi ebisusse okukubwa amasannyalaze ne bifa naddala ku bikondo bya masannyalaze ebiriraanye kasasiro.

Bano babadde ku kyalo Kiddokolo e Maganjo mu diviizoni y’e Nabweru mu munisipaali y’e Nansana.

Okusinziira ku Ying. Kassim Kasana avunaanyizibwa ku kulondoola layini z’amasannyalaze mu kitongole kya UEDCL agambye nti, kino kikoleddwa okulaba nga bataasa ebinyonyi ebyakazibwako erya kaloori ebibadde bifa nga bibuuka.

Agambye nti bulijjo babadde tebamanyi kibadde kiggyako amasannyalaze ng’abantu bangi naddala abalina bizinensi bafiirizibwa ensimbi okutuuka bwe baakoze okunoonyereza ne bakizuula nti ebinyonyi bwe bikubwa amasannyalaze nga gavaako.

Jimmy Kiggundu nga yakulira ebikwekweto ku ofiisi y’e Namugongo agambye nti layini y’amasannyalaze gye bali mu kutereeza yeeyo eya Waligo Substation ng’eno ebitundu okuli Kkungu, Kyanja, Komamboga, Namere, Kitala, Kanyanya, Mpereerwe n’ebitundu ebiriranyeewo be babadde basinga okwemulugunya era nti bagenda kuteeka ebisabika bino mu mmita 300 kuba ebinyonyi we bizannyira.

Tags:
Amawulire
UEDCL
Masannyalaze
Kukuba
Binyonyi