TEHRAN, IRAN
KATI ate olutalo gye lutuuse tewaasoboke. America ekubye emmeeri za Iran ttaano (5) ne zibbira mu kagolomolo n’agayanja ga Buwalabu amalala.
ENGERI IRAN GYE YEESASUZZA
Mu kwesasuza, eggye lya Iran erya Islamic Revolutionary Guard Corps ligamba nti, lyakubye emmeeri za America ennwaanyi 10.
Okwo era lyewaana bwe lyakubiddeko n’emmeeri z’amawanga amalala ezaabadde zigezaako okukukusiza amafuta mu kagolomolo. Eggye eryo ligattako nti lyakubye n’enfo za America mu Jordan kyokka eggwanga eryo ligamba nti, mizayiro ezaabadde zirumbye zaakubiddwa.
IRAN EWAMBYE LUBBIRA YA AMERICA
Iran egamba nti yawambye lubbira y’eggye lya America enkessi eyabadde esindinkiddwa okukung’aanya bwino mu kagolomolo.
Emmeeri eno eyitibwa Dive-LD Submersible, eyakolebwa kkampuni ya Anduril mu ssaza ly’e California mu America, esobola okusindikibwa mu nfo n’emalamu ennaku 10 ng’eketta buli kirimu.
Eriko obuwanvu bwa fuuti 19, nga si nnene nga ziri endala ennwaanyi ate nga yeevuga
yokka, wabula saayansi waayo ow’amaanyi, aketta n’ebyalema eda. Ekozesebwa mu kuketta bbomu eziyiibwa mu mazzi eza ‘sea mine’ ezigambibwa nti Iran yaziyiwa mu kagolomolo.
Eketta entambula z’emmeeri ng’eziwuliriza ng’eri wansi ku ntobo y’ennyanja n’eweereza obubaka amagye ga America, bwe zibeera za mulabe ne gazikolako.
Eketta gawaya gonna agayita wansi w’ennyanja ne ge zitwala n’eketterau n’amaloboozi. Kati Iran egamba nti, lubbira eyo yategeddwa obutimba n’ebugwamu ne bagiroba.
Wabula ekitebe ky’eggye lya
America ekya Pentagon kyategeezezza nti, lubbira eyo emaze ennaku ng’efunyeemu okulemererwa okukola so si kugiwamba nga bwe bagamba nti baagiteze.
Mu bufunze, okugiwamba yabadde yafudde bufi nga tekola. Olutalo olwali lusiriikiridde
mu June w’omwaka guno olw’endagaano eyakolebwa, lwazzeemu gye buvuddeko olwa Iran okugaana okuwaayo nukiriya waayo n’okulwana ate amawanga gombi ne gakuddako n’efiira ddala.