Amawulire

Ayogedde ku bya Gen. Muhoozi

MUNNAMAGYE eyawummula Gen. Mugisha Muntu alumbye omuduumizi wa UPDF, Gen. Muhoozi Kainerugaba olwa kye yayise okubuguma n’okupapa okulangirira bw’agenda okwesimbawo ku Bwapulezidenti mu 2031.

Gen. Mugisha Muntu
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MUNNAMAGYE eyawummula Gen. Mugisha Muntu alumbye omuduumizi wa UPDF, Gen. Muhoozi Kainerugaba olwa kye yayise okubuguma n’okupapa okulangirira bw’agenda okwesimbawo ku Bwapulezidenti mu 2031.
Muntu, yasinzidde mu lukung’aana lwa bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina kye ekya Alliance for National Transformation (ANT) e Lungujja n’ategeeza nti okulangirira kwa Muhoozi kujjidde mu kiseera kikyamu kuba okulonda kwakaggwa.

Yagambye nti, obudde buno tewali ayinza kuva mu kibiina wadde ekyabwe n’ategeeza nti y’agenda okukikwatira bendera mu 2031 kuba emyaka gikyaliyo ena miramba nga Gavumenti eriko okutambuza ekisanja kyayo. Muntu yawabudde Muhoozi nti, atte ku bigere obudde obutuufu bwe bunaatuuka attunke n’abalala abaagala Obwapulezidenti

Tags: