MUNNAMAGYE eyawummula Gen. Mugisha Muntu alumbye omuduumizi wa UPDF, Gen. Muhoozi Kainerugaba olwa kye yayise okubuguma n’okupapa okulangirira bw’agenda okwesimbawo ku Bwapulezidenti mu 2031.
Muntu, yasinzidde mu lukung’aana lwa bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina kye ekya Alliance for National Transformation (ANT) e Lungujja n’ategeeza nti okulangirira kwa Muhoozi kujjidde mu kiseera kikyamu kuba okulonda kwakaggwa.