OLUDDA oluwaabi lw'ongedde emisango ku yali omuteesiteesi omukulu mu minisitule y'ebyobusuubuzi Geraldine Ssali Busuulwa ,omubaka Mawanda n'abalala abenyigira mivuyo gya ssente za SACCO.
Empaaba empya eyaleeteddwa Edward Muhumuza okuva mu ofiisi ya Ssabawaabi wa gavumenti ,Ssali ayongeddwako emisango gyokufiiriza gavumenti ssente ye bweyafulumya ssente nti ya Buyaka SACCO ng'akimanyi ebikolwa bye bijja kufiiriza gavumenti ssente.
Kati emisango awezezza esatu okuli okukozesa obubi ofiisi ,okufiiriza gavumenti obuwumbi busatu okwo gattako okwekobaana n'ababaka ba palamenti okufiira gavumenti ssente.
Mu 2024 Ssali yavunaanibwa okukozesa obubi ofiisi bweyawandiisi Buyaka SACCO Ku lukalala lwa SACCO ezaali zirina okufuna ssente za gavunenti ng'abasasula abakozesebwa olutalo olwaleeta Museveni mu buyinza,ngate Buyaka teyaliiko.
Oludda oluwaabi lugamba nti Ssali mu mwaka gwebyensimbi 202/2023 mu bukyamu yakkiriza n'awaayo ssente obuwumbi busatu n'obukadde ng'akozesa ofiisi ye ng'akimanyi bulungi byakola bikontana ne birubirirwa bya bakamaabe.

Geraldin Ssaali ng'ali mu kkooti n'ababaka abalala
Omulamuzi Jane Kajuga Okuo owa kkooti enkulu ewozesa abalyake n'abakenuzi yabasomedde emisango era byonna ne bagyegaana.
Ssali avunaanibwa n’ababaka ba palamenti okuli Micheal Miranga Mawanda owa Igara East era nga yakulira okukwasisa empisa mu kisinde kya Patriotic League of Uganda ekikulirwa Gen Muhoozi Kainerugaba, Ignatius Mudimi Wamakuyi owa Elgon County e Bulambuli, eyali owa Bisiki County Paul Akamba ssaako munnamateeka Julius Taitakonko Kirya owa Kirya and Company Advocates ne Leonard Kavundira eyali akulira obwegassi mu minisitule y’ebyobusuubuzi.
Mawanda yayongeddwako emisango gy'okubuzabuuza ensibuko ya ssente ssaako munnamateeka Julius Kirya ,nomubaka Mudimi.
Empaaba y’oludda oluwaabi eyasomebwa mu kkooti egamba nti mu October 2021 omubaka Mawanda yabulankanya 1,050,000,000/= ezaali ez’okusasula abantu abafiirwa ebintu byabwe mu Lutalo olwaleeta gavumenti ya NRM mu buyinza nga zaali ziyisiddwa mu SACCO eya Buyaka Growers Cooperative Society Limited, naazikozesa ebibye.
Bannamateeka baabwe bagezezzaako okuwakanya empaaba empya nga bagamba oludda oluwaabi bweruleese tebyali mu kuwumbawumba kwebateeka mu kkooti bwebaali basindika abawawaabirwa mu kkooti enkulu nti era oludda oluwaabi lukyupula misango nga bwekyusa emiwendo okutondamu emisango emirala.
Kyokka okuwakanya kwabwe omulamuzi akugobye n'agamba tewali bwebajja kukosebwa ng'ebaleese emirala ate oludda oluwaabi lulina eddembe okuleeta emisango wonna weebagalira.
Ssabawaabi wa gavumenti era alumiriza nti wakati wa October 2021 ne June 2023 mu Kampala omubaka Mudimi yezza 2,389,714,611/=, Omubaka Akamba kigambibwa nti yafuna obukadde 200, munnamateeka Kiirya yafuna 2,228,714,611/=.
Kigambibwa nti Mawanda ,Mudimi ne Kirya wamu babuzabuuza ssente akawumbi kamu nobukadde 214 ezaai eza Buyaka SACCO nebazikozesa okusasula amabanja agaali gababanjibwa ssaako okutambuza omusango ogwali mu fayiro yebyobusubuuzi.
Emisango awamu era baavunaaniddwa okwekoobana okuzza omusango ogugambibwa nti baaguzza wakati wa 2019 ne 2023 mu Kampala bwebekobaana nebezzaezza,448,714,611/= eza Buyaka Growers Cooperative Limited.