OKUVA Obukama bwa Tooro lwe bwatandikawo mu 1830, bulina ebyafaayo ebiremye ababuwulira obuwulizi okutegeera kyokka nga bannannyini bwo, buli kimu bakikuba
budinda.
Bwatandikibwawo Omukama Kaboyo Olimi I, era ng’oyo yali mwana wa Omukama
wa Bunyoro-Kitara.
Omukama wa Bunyoro ye yali Nyamutukura Kyebambe III. Yafuna obutakkaanya ne kitaawe n’agenda awamba ekitundu ekyon’akitandikamu Obukama obupya era obuliwo kati. Tooro erina ebyafaayo bingi nga mu nsi yonna, y’ebadde ekyalina Omukama (Kabaka) akyasinze obuto ng’atuula ku Nnamulondo. Okusinziira ku kitabo kya Guinness World Book of Records, Omukama Oyo Nyimba Kabamba guru Rukidi IV, eyatuula ku Nnamulondo mu 1995, ye mukulembeze ow’ensikirano mu mwaka ogwo, eyatuula ku Nnamulondo nga muto nnyo, anti yatuulako wa myaka esatu.
Ensonga eno era eva ku kyafaayo kya Tooro ekinene ddala.
Ekyafaayo ekyo ky’ekyAbakama baayo okufanga nga bato, abamu ne bamala ku Nnamulondo omwaka gumu gwokka. 1 Ekyafaayo ky’Abatooro ekyo kiwanuuza nti, Omulangira anaatuula ku Nnamulondo, azaalibwa n’obubonero kwe bamulabira obugenda nga bweyolekera ddala gy’akoma okukula.
Ng’abaana abalala bwe bazaalibwa ng’engalo zaabwe zeefunya buli kadde, gy’akoma okukula ne zeefunyulula okulabibwa buli omu, gye bakoma okulaba obubonero obwo. Zigenda zeetondamu obubonero okuli engabo, engoma oluusi n’effumu.

Amabeere ga Nyinamwiru.
Gy’akoma okukula, n’okweyerurira ddala obulungi. Obubonero obwo we buviirayo ne bweyoleka,
Omukama abadde ku namunlondo, aba alina okufa mu ngeri yonna! Asobola okufa
obulwadde oba ekintu ekirala kyonna!
Wano we wava abamu okukweka Abalangira be basuubiriza nti bayinza okubeera n’obubonero obwokubanga singa ab’emyoyo emibi bamulaba n’obubonero obwo, basobola n’okutta obussi Omukama abeera ku Nnamulondo, Omulangira omuto atandike okulamula.
Okumukweka kibayambako waakiri okukuuma ekyama, ne kiwangaaza Omukama abeera ku Nnamulondo waakirin’alamula ebbanga ttono ne bwe gubeera mwaka gumu, okusinga abamu abayinza okumuttirawo nga beekwasa nti obubonero bw’omwana baabulabye wadde nga buyinza okuba tebunneetondeka bulungi.
2 Amabeere ga Nyinamwiru –Zino njazi ezisangibwa okumpi n’ekibuga Fort Portal. Kigambibwa nti Omukama Bukuku yatemezebwako nti, muzzukuluwe alizaalibwa omumbejja Nyinamwiru, y’alimuggya ku Nnamulondo. Bukuku yawa muwalawe ekibonerezo kya kumusalako mabeere. Abatooro bakkiriza nti, amabeere ga Nyinamwiru geego agatonnya amata mu njazi okutuusa kati.
Enjazi zino ziri mu mpuku eyitibwa Nyakasura Caves era zaakulira ddala nga bw’olaba amabeere. Zitonnya amazzi ameeru agafaananira ddala nga bw’olaba amata.
3 Empaako – Balina enkola y’amannya ag’ekitiibwa ennyo wadde ng’amannya gaabwe gonna ga kitiibwa.
Ku nsonga y’empaako, Omutooro yenna azaalibwa n’empaako ye.
Amannya gano gakozesebwa kubuuza, okusaasira, okwolesa omukwano, okulaga ekitiibwa n’ebirala. Ky’ova olaba nga mu kubuuza, abamu babuuza nti, ‘empaako yaawe?’ Olwo oli n’amuddamu nti, ‘Abwooli, Akiiki...”
Amannya agoogerwako ag’empaako mulimu: Apuuli, Abwooli, Adyeri, Araali, Akiiki, Atwoki, Abooki, Ateenyi, Amooti n’amalala