Poliisi e Bududa, eyigga abantu abaakubye abadde ssentebe wa LC 1 ne bamutta.
Abanoonyezebwa, kuliko Peter Kakala, Noah Walimbwa ne Lawrence Khakara.
Kigambibwa nti omugenzi yasoose kutuma Laben Mukhwana okubaako gw'ayita nti bano ne bamukwata ne bamukuba.
Nti ssentebe bwe yagezezzaako okutaasa gwe baabadde bakuba nti naye ne bamukuba bubi nnyo n'aweebwa ekitanda e Bududa nti embeera bwe yeeyongedde okubiggya, ne bamwongerayo mu ddwaaliro e Mbale gye yafiiridde.
Omwogezi wa poliisi e Mbale Rogers Taitika, agambye nti okuyigga bano kugenda mu maaso.