Amawulire

Poliisi yenyodde n'ababatuuze ababadde bakola effujjo mu kulonda kwa LC okwaddiddwamu e Namuwongo

POLIISI eyiiriddwa mu bungi  olwaleero mu YOKA zooni e Namuwongo mu munisipaali yéMakindye okukakkanya abatuuze ababadde batabuse mu kuddamu okulonda kwa Ssentebe wékyalo okuddidwamu oluvanyuma lwokulonda kwa bonna okwaliwo nga July 28 okuyiibwa.

Poliisi nga yenyoola n'omuvubuka abadde acankalanya okulonda
By: Benjamin Ssemwanga, Journalist @New Vision

POLIISI eyiiriddwa mu bungi  olwaleero mu YOKA zooni e Namuwongo mu munisipaali yéMakindye okukakkanya abatuuze ababadde batabuse mu kuddamu okulonda kwa Ssentebe wékyalo okuddidwamu oluvanyuma lwokulonda kwa bonna okwaliwo nga July 28 okuyiibwa.

Poliiis eng'ekutte omuvubika abaadde akola effujjo mu kulonda

Poliiis eng'ekutte omuvubika abaadde akola effujjo mu kulonda

Abatuuze abamu babadde tebaagala okulonda kuno kuddibwemu wabula abalala nga basazeewo okuddamu okulonda nga akakiiko ke'byokulonda bwe kasalawo.

Ensasagge wano weyajidde abavubuka abamu ababadde bawakanya okulonda kuno nga benyoola ne poliiisi era ekyaddiridde poliisi kwekuyiwa basajja baawo okusobola okukakkaanya abavubuka bano ababadde basazeewo bakyankalanye okulonda.

Fred Mwesige akutte empapula ( wakati) nólukiiko lwe lwe yalonze oluvanyuma lwókuwangula obwa Ssentebe bwa YOKA zooni e Namuwongo

Fred Mwesige akutte empapula ( wakati) nólukiiko lwe lwe yalonze oluvanyuma lwókuwangula obwa Ssentebe bwa YOKA zooni e Namuwongo

Bakwatiddwa na kifuba  ne batekebwa mu kamotoka ka poliisi akakazibwako erinya lya '"Nalufenya" ne batwalibwa ku poliisi e Kabalagala oluvanyuma abatuuze ne basomebwa amanya gabwe era ne batandiika okulonda.

Okuvuganya okwamanyi kwabadde wakati wa Fred Mwesige atabadde na kibiina ne Firiida Nasirumbi owa NRM, wabula Nasirumbi teyalabiseeko era ne bateekawo akatebe mu kulonda okwakoleddwa.

Okulonda kwakomekkerezeddwa nga Fred Mwesige atalina kibiina akawangudde nga afunye obululu 147 ate Nasirumbi eyakutte ekyokubiri afunye obululu 11.

Eyakulembeddemu okulonda Godfrey Sserunjogi oluvvanyuma yakwasiza Fred Mwesige eyawangudde akalulu kano empapula eziraga nti awangudde era yawereddwa nomukisa okulonda akakiiko kagenda okukola nako

Tags: