POLIISI eyiiriddwa mu bungi olwaleero mu YOKA zooni e Namuwongo mu munisipaali yéMakindye okukakkanya abatuuze ababadde batabuse mu kuddamu okulonda kwa Ssentebe wékyalo okuddidwamu oluvanyuma lwokulonda kwa bonna okwaliwo nga July 28 okuyiibwa.

Poliiis eng'ekutte omuvubika abaadde akola effujjo mu kulonda
Ensasagge wano weyajidde abavubuka abamu ababadde bawakanya okulonda kuno nga benyoola ne poliiisi era ekyaddiridde poliisi kwekuyiwa basajja baawo okusobola okukakkaanya abavubuka bano ababadde basazeewo bakyankalanye okulonda.

Fred Mwesige akutte empapula ( wakati) nólukiiko lwe lwe yalonze oluvanyuma lwókuwangula obwa Ssentebe bwa YOKA zooni e Namuwongo
Okuvuganya okwamanyi kwabadde wakati wa Fred Mwesige atabadde na kibiina ne Firiida Nasirumbi owa NRM, wabula Nasirumbi teyalabiseeko era ne bateekawo akatebe mu kulonda okwakoleddwa.
Okulonda kwakomekkerezeddwa nga Fred Mwesige atalina kibiina akawangudde nga afunye obululu 147 ate Nasirumbi eyakutte ekyokubiri afunye obululu 11.
Eyakulembeddemu okulonda Godfrey Sserunjogi oluvvanyuma yakwasiza Fred Mwesige eyawangudde akalulu kano empapula eziraga nti awangudde era yawereddwa nomukisa okulonda akakiiko kagenda okukola nako