KU kyalo Ddegeya mu ggombolola y’e Kalagala mu distulikiti y’e Luwero okulonda ssentebe w’ekyalo kuzzeemu ne kuyiika oluvannyuma lw’abadde alondesa okugamba nti abalonzi beetabye mu layini endala ate ng’ali mu kubabala.

Matyengere ng'ayombesa Omuserikale ku kifo we babadde balondesa,
Kino okubaawo Matyengere yabadde yaakabalako layini emu yokka eya munnakibina kya NRM Fazir Kiryowa kyokka n’agaana okubala layini y’owa NUP, Kityo Christopher ng’agamba nti bw’abadde abala eya Kiryowa alabye nga waliwo abawagizi abalala ababadde beesimbyewo ate abayingidde mu layini endala bw’atyo n’ayiwa okulonda kuno.

Abantu bo baabadde basimbye layini okulonda.
Embeera ebaddewo ereetedde abatuuze okutabuka nga bagamba nti bazze dda era nga tewali aleeta kavuyo kuba ne poliisi ebaddewo okukuuma emirembe nga kati balinga ababamalidde obudde bwabwe era ng’abatuuze bagenze okuva mu kifo kino nga tewali ssentebe alangiriddwa ku kyalo kino.
Ababadde beesimbyewo babadde bana wabula nga okuvuganya okw’amaanyi kubadde wakati wa munnakibiina kya NRM Kiryowa n'owa NUP Kityo.