Amawulire

Ssentebe asombye kasasiro n'amuyiwa ku ofiisi za diviizoni y'e Nansana n'ategeeza nti amukoooye ku nguudo z'ekyalo kye

Nankya abadde eyabadde omukaawu ategeezezza nga bw’akooye entuumu za kasasiro eyakung’aanyizibwa ku Lwomukaaga eggwanga bwe lyetaba mu bulungibwansi ow’obuwaze. 

Ssentebe asombye kasasiro n'amuyiwa ku ofiisi za diviizoni y'e Nansana n'ategeeza nti amukoooye ku nguudo z'ekyalo kye
By: Kiragga Steven, Journalist @New Vision

Ssentebe wa Nabweru South cell I, Dorothy Nankya avudde mu mbeera n’atikka ebimotoka bya kasasiro n’amuyiwa ku ofiisi za diviizoni y’e Nansana ng’agamba nti abatwala diviizoni balemeddwa okumukung’aanya okuva ku nguudo mu zzooni ye.

Nankya ng'atabukidde mugabi ssentebe wa diviizoni y'e Nansana

Nankya ng'atabukidde mugabi ssentebe wa diviizoni y'e Nansana

Nankya abadde eyabadde omukaawu ategeezezza nga bw’akooye entuumu za kasasiro eyakung’aanyizibwa ku Lwomukaaga eggwanga bwe lyetaba mu bulungibwansi ow’obuwaze.

Ye ssentebe wa diviizoni eno, Sam mugabi agezezzaako okuwooyawooya Nankya nga buteerere.

Kasasiro gwe baayiye mu maaso ga ofiisi za diviizoni.

Kasasiro gwe baayiye mu maaso ga ofiisi za diviizoni.

Mugabi avumiridde eky’okuyiwa kasasiro ku ofiisi ye n’ategeeza nga bwe bali mu kaweefube w’okukung’aanya kasasiro mu kitundu kyonna n’ategeeza nga  bwe bagenda okwongera enteekateeka y’okukung’aanya kasasiro.

Mmotoka ng'eyiwa luutu ya kasasiro endala.

Mmotoka ng'eyiwa luutu ya kasasiro endala.

Tags:
Ssentebe
Nansana
Kasasiro
Kuyiwa
Kutegeeza
Diviizoni