SSENTEBE wa NRM mu ggombolola ya Wakiso Mumyuka, Aron Ndyanabo asabye Gavumenti nga bwetadde ssente ennyingi mu bajeti, eteeke eriiso ddene ku mirimu egikolebwa kiyambe ssente y'omuwi w'omusolo obutafirizibwa.
Yannyonnyodde nti ku by'okwerinda, abakuuma ddembe basaanye babeere mu bantu okutangira embeera y'obunkenke n'obutabanguko mubitundu.
Ndyanabo yagambye nti eby'okwerinda n'obutebenkevu yemu kumpagi eyimirizaawo eggwanga, nasaba Gavumenti eyongere poliisi mu miruka kikendeeze ku bumemyi bw'amateeka.
Ndyanabo era yasabye ensonga y'enguudo okukwatibwako olwo abantu abafuna eza PDM basobole okutambuza emirimu gyabwe nga tebafuna buzibu muntambula.
Yakuutidde Gavumenti okwongera okubunyisa eddagala mu malwaliro ssaako okwongera omutindo ku malwaliro kiyambe abantu okukola emirimu gyabwe nga balamu olwo baganyulwe nemu musolo ogubawebwa.

Sserugo ng'annyonnyola
Ndyanabo era yasabye amasomero ga Gavumenti gatekebwemu amaanyi okusingira ddala okutekamu abasomesa ate nga bamanyi kye bakola kikendeeze ku baana abagwa mubigezo bya kamalirizo.
Yasoomozessa nnyo abalambuzi b'amasomero ku disitulikiti okuva mu offiisi batambule nga mu masomero okulaba nga betegereza abasomesa bye bakola kuba abamu bamala wiiki nga tebalabise ku masomero, ekintu ekifiriza abaana.
Ye ssabakunzi wa NRM mu muluka gwa Lukwanga e Wakiso, Hassan Serugo yasabye nga PDM bwe yatereddwamu ssente ennyingi, Wakiso erowozebweko ekyenjawulo nga baguwa ssente eziwera.
Serugo yagambye nti emiruka mu Wakiso girimu abantu bangi nga mukino obukadde 100 tebumala bantu bonna ate nga bangi bagala enkulakulana.
"Pulezidenti bweyali alambula Wakiso, abakulembeze baamutegeeza obungi bw'abantu mu Wakiso nebamusaba ssente zongerweko, era naye natutegeeza nti Wakiso bagenda kugiwa obukadde 300 buli muluka. Tusaba kino kikolebwe abantu bejje mubwavu." Serugo bweyayongeddeko.