Amawulire

Loodi Meeya alaze pulaani y'okumalawo jjaamu ne kasasiro mu kibuga

Loodi Meeya wa Kampala, Ying. Ronald  Balimwezo asisinkanye minisita wa Kampala, Hajjat Minsa Kabanda n’amwanjulira enteekateeka gy'alina okumalawo akalippagano k'ebidduka ne kasasiro mu kibuga. 

Balimwezo
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Loodi Meeya wa Kampala, Ying. Ronald  Balimwezo asisinkanye minisita wa Kampala, Hajjat Minsa Kabanda n’amwanjulira enteekateeka gy'alina okumalawo akalippagano k'ebidduka ne kasasiro mu kibuga. 

Mu ngeri y'emu amutegeezezza nga bw'ayagala okutandika okusula mu nnyumba y'obwa Loodi mmeeya e Kololo kubanga ekitiibwa ky’alina kati tekimusobozesa kusula bbali wa  kibuga.
“Nteekwa okusula mu maka  ag’ekiroodi, mu kifo eky’ekiroodi mwe nsobola okukolera emirimu gya Bannakampala obulungi nga nsobola okusisinkaniramu abakungu ab'enjawulo ku buli mutendera,” Balimwezo bwe yagambye. Byabadde mu lukiiko olwabadde olw’enjawulo olwatudde ku City Hall nga lwabaddemu bammeeya b’amagombolola okuli ow’e Kawempe,m Emmanuel Sserunjogi, owa Lubaga Zachy
Mbeeraze Mawula, ba sipiika ba KCCA okuli John Mary Ssebuwufu, Olive Namazzi
n’abalala.
Ennyumba eno esangibwa ku Poloti 02 ku luguudo Mabua e Kololo. Mu biseera omugenzi Alhajj Nasser Ntege Sebaggala we yabeerera mmeeya wa Kampala, nnyumba eno yali etundiddwa, wabula Loodi meeya abaddeko, Erias Lukwago n’aginunula kyokka yagaana okugisulamu era kati ekozesebwa nga sitoowa.

Ennyumba y'obwa Loodimmeeya esangibwa e Kololo. Waggulu ye minisita wa Kampala, Hajjat Minsa Kabanda.

Ennyumba y'obwa Loodimmeeya esangibwa e Kololo. Waggulu ye minisita wa Kampala, Hajjat Minsa Kabanda.


Mu lukiiko, basipiika baayanjulidde minisita nti emisaala gyabwe gisaana gitereezebwe
ate bakansala abaagala okwewola mu bbanka bakkirizibwe kubanga kasookedde balayira bakyalemeseddwa.
Balimwezo era yayanjulidde minisita nti alina bamusigansimbi abalina pulogulaamu z’okumalawo akalippagano mu Kampala nga baleeta eggaali y’omukka ekolera mu kibuga n’obumotoka obutambulira waggulu ku waya. Yagasseeko nti, alina ne bamusigansimbi abagenda okukola ku kasasiro okumalawo ekizibu kino mu kibuga.
Minisita Kabanda yasanyukidde ebyateeseddwaako n’agamba nti waakubyanjula bikubaganyizibweko ebirowoozo