EMBEERA y’obulamu bw’eyali loodi mmeeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago eyongedde okweraliikiriza aba famire ye bwebabategeezezza nti tebekakasa nga ddala asobola okufunira obujanjabi bweyetaaga mu kkomera gyali.
Bano nga bakulembeddwa mukyala we Nnaalongo Zawedde Lukwago, babyogedde basisinkanye ekibiina ekigatta Bannamateeka mu ggwanga ekya Uganda Law Society ku kitebe kyabwe ku Acacia Avenue mu Kampala okwongera okusalira awamu amagezi ku birina okukolebwa okulaba nga Lukwago ava mu kkomera.
Nnalongo Lukwago agambye nti bba alina omusawo we ow’enjawulo omujanjaba olw’obuvune bweyatuusibwako era nga bwava mu mirimu gy’ezze akola naddala ogw’okuwolereza Bannabyabufuzi ku misango egy’enjawulo kale n’alaga nti ebbanga ly’anamala nga talaba musawo we embeera y’obulamu bwe eyinza okutambuka.
Kyokka yalaze obwennyamivu nti embeera eno yonna baagitegeeza omulamuzi nga Lukwago aleeteddwa mu kkooti wabula n’atamuwuliriza kyokka n’amusaba nti waakiri bw’anaaba akomezeddwawo mu kkooti, omukkirize okweyimirirwa asobole okufuna obujanjabi obutuufu.
Kyokka omwogezi w’amakolera Frank Baine agambye nti tewali tteeka ligaana musawo wa muntu yenna kugenda kumulaba ng’ali mu kkomera era n’asaba mukyala Lukwago agende ayogere n’abekkomera Lukwago gyali ajja kusobola okulaba omusawo we era ajja kusobola okukwatagana n’abamakomera amuwe obujanjabi bweyetaaga.
Mu lukungaana lwerumu, abakulembeze ba Bannamateeka mu ggwanga nga bakulembeddwa amyuuka Pulezidenti w’ekibiina kino Anthony Asiimwe, balaze obw’ennyamivu eri ekitongole ekiramuzi wamu n’eri ofiisi ya Ssaabawaabi wa Gavumenti olw’okuba nti zirabika nga ezitaagoberedde mateeka kimala naddala mu ngeri gyebakuttemu ensonga za Lukwago.
Era bano mu kulaga obutali bumativu gwabwe, batambuzza ebigere okuva ku ofiisi zabwe mpaka ku ofiisi ya Ssaabawaabi wa Gavumenti esangibwa ku Workers House mu Kampala okwongera okumusaba okuggya ku Lukwago emisango gyonna egyaamutekebwako kubanga nti abaakikola ekigendererwa kyabwe kya kumulemesa kukola mulimu gwe ogw’okuwolereza abantu mu bulambulukufu.
Banna Ssaabawaabi wa Gavumenti bamusisinkanye kyokka n’abasuubiza okwongera okutunula mu nsonga zabwe ku Mmande ya wiiki ejja.