Amawulire

Ttuleera esaabadde takisi e Kyotera 5 bafudde5 bafudde

KIZZAAKABENJE ddekabusa kagudde ku luguudo oluva e Masaka okud-da e Kyotera, ttuleera y’amafuta bw’esaabadde ttakisi ebadde eyimiridde ku kkubo okugg-yamu abasaabaze, okukkakkana ng’abantu bataano bafiiriddewo!

Takisi eyagoyeddwa ttuleera y’amafuta.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KIZZAAKABENJE ddekabusa kagudde ku luguudo oluva e Masaka okud-da e Kyotera, ttuleera y’amafuta bw’esaabadde ttakisi ebadde eyimiridde ku kkubo okugg-yamu abasaabaze, okukkakkana ng’abantu bataano bafiiriddewo!

Akabenje kano kaagudde ku kyalo Bootera wakati wa Kaabuwoko-Bukunda ne Kaliisizo, ttuleera nnamba T 813 DYP bwe yasaabadde ttakisi nnamba UBH 378W eyabadde eva e Kam-pala ng’eyimiridde ku siteegi e Bbootera okuggyamu abasaabaze.

Ttuleera nayo yabadde eva ku ludda lwe lumu olw’e Masaka okudda e Kyotera n’egisaabala n’egibyabyataza!Abadduukirize nga bali ne poliisi eyabadde eduumirwa DPC w’e Kyotera, Justus Namanya n’akulira poliisi y’ebidduka e Kyotera, Johnson Yeheyo, baatemy-emu abasaabaze okuli abaabadde bakyali abalamu n’abaafiiriddewo.Abaafudde kuliko n’omukadde ow’emyaka 60, Nowerina Nayiga ng’ono mmotoka yagirinnyidde mu kibuga Masaka oluvannyuma lw’okusiibulwa mu ddwaaliro ekkulu e Masaka gy’amazze wiiki bbiri ng’alongooseddwa eriiso!

Okusinziira ku muwala we, Praxeda Nakanwagi omu ku baasi-mattuse n’ebisago ng’ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya Gavumenti e Kaliisizo, yategeezezza nti babeera ku kyalo Lusozi e Kannabulemu mu ggom-bololola y’e Kyebe.Abalala abaafudde kuliko Resty Naluwooza (40), abadde amanyid-dwa nga Maama Sam ow’e Lusaka -Kaliisizo nga kigambibwa nti ono yakedde mu kibuga Masaka okubaako by’asuubula era okusin-ziira ku bba Edward Mujjuzi, mmotoka yagirinnyidde Masaka oluvannyuma lw’okusuubula!

Omulala eyafudde ye Maxy Na-lubega amanyiddwa nga Maama Robert ng’ono abadde atunda dduuka lya ngoye mu kibuga Kaliisizo nga n’ono kigambibwa yakedde kusuubula ngoye mu kibuga Masaka ng’abadde abulayo mmayiro bbiri zokka okuyingira Kaliisizo.

Abalala abaafudde ababiri, baabadde basajja abataategeer-ekese bibakwatako. Emirambo gyonna gyatwaliddwa mu ggwani-ka ly’eddwaaliro e Kaliisizo.Abamu ku baasimattuse n’ebisago kuliko; Micheal Kag-gwa ow’e Kirumba mu kibuga Masaka, Umar Kasujja ow’e Kinoni, Wahabu Lutaaya ow’e Bukunda n’abalala. Abaasimattuse baategeezezza nti ttuleera yabadde ewenyuka ng’egobagana ne zin-naaayo endala.Omwogezi wa poliisi e Ma-saka, Twaha Kasirye yategeezezza nti, poliisi yakutte omugoba wa ttuleera ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso