Amawulire

Omwoleso gwa Bride and Groom gwengedde

OMWOLESO gwa Bride And Groom, ogw’omulundi ogwa 17, gwengedde era abamu ku bagenda okwolesa n’okusomesa beesunze okuwa Bannayuganda ekisinga mu by’emikolo n’embaga.

Senga Hamidah, Dr. Paul Kibenge okuva mu Fertility Hospital, Kemi Omeke, Lorraine Tukahirwa owa Vision Group, Anita Namusiima owa Sheraton Hotel, Pasita Isaac Rwomushana owa God is Good outreach minis
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMWOLESO gwa Bride And Groom, ogw’omulundi ogwa 17, gwengedde era abamu ku bagenda okwolesa n’okusomesa beesunze okuwa Bannayuganda ekisinga mu by’emikolo n’embaga.
Guno gutegekebwa kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde era guli wansi w’omulamwa ogugamba nti; Beyond I do: A Journey of Love, Home and Family’ (Nzikkiriza leero ne bulijjo, olugendo lw’omukwano amaka ne ffamire). Gwakubeerawo okuva nga June 26 okutuusa June 28 ku UMA Multipurpose Hall e Lugogo ng’okuyingira kwa 10,000/-
Eggulo ku Lwokusatu, gwayanjuddwa eri emikutu gy’amawulire emirala era Lorraine Tukahirwa, akulira ebyakitunzi mu kkampuni ya Vision Group n’asuubiza abantu ebinyuma nga bino byabadde ku Sheraton Terrace Lakeside.
Agamba nti waakubaayo aboolesi abalina buli kalonda akwata ku mikolo n’embaga, abakugu mu by’obufumbo n’amaka baakubuulira abantu, kyokka era n’emisomo egikwata ku byenfuna mu baagalana, gijja kusomesebwa.
Mu boolesi, mujja kubaamu ne wooteeri ez’omulembe nga Sheraton ate era abanaayingira, baakubeera bannamukisa okwewangulira ku birabo buli lunaku kyokka ng’ate, abayimbi ne bannakatemba abatali bamu, baakusanyusa abantu.
Tukahirwa, yeebazizza emikutuokuli Next Media, Galaxy, CBS, ne Spirit eziyambye ennyo okutumbula omwoleso guno
Kemi Omeke owa Pink Coconut by Kemi agamba nti amaze emyaka 18 mu kutegeka emikolo era yategeezezza nti; “Abaagalana bamala ebbanga mu kutegeka embaga ey’omulembe kyokka ne beerabira okuzimba omusingi okuzimbirwa okwagalana era nsaba abategeka embaga, okuziwa abategesi, bo abagole, beemalire mu kusima omusingi ogunaabakuumira awamu lubeerera,” Kemi Omeke bwe yategeezezza.
Omwoleso guno, guvujjiriddwa kkampuni okuli; Pepsi, The Looks Bespoke, Bella Wine ne Roke Telecom n’endala okuli; Oppein, Sheraton Kampala Hotel n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa abantu mu ggwanga ekya NIRA