OMUSANGO gwa Seeka Umar eyamanyibwa ennyo ng’omulombi w’edduwa gutandise okuwulirwa, mulamu we n’amuwaako obujulizi bw’okutigaatiga muwala we.
Seeka Kassim Umar Muwonge Kamoga amanyiddwa nga Seeka Umar ow’e Nansana y’aweereddwaako obujulizi mu gw’okukukusa omwana ow’emyaka 13 (amannya gasirikiddwa) okuva ku bazadde n’okumukabassanya.
Omusango guli mu maaso g’Omulamuzi Alice Komuhangi Khaukha owa kkooti enkulu ewozesa emisango gya nnaggomola.
Ng’alambikibwa Omuwaabi wa Gavumenti George Bigirwa, Cissy Naluwooza 39, nga mulamu wa Seeka Umar omutuuze w’e Kiboga era nga ye nnyina w’omwana agambibwa okutuusiibwako embeera eno, yategeezezza omulamuzi byonna ebyaliwo n’agamba nti byonna byamutegeezebwa muwala we ono.
Yagambye nti muwala we eyasobezebwako nga kati aweza emyaka 16, yamuleka bba oluvannyuma lw’okwawukana ye, Naluwooza n’agenda mu bizinga by’e Kalangala okuyiiya obulamu.
Nti oluvannyuma lw’embeera okubakaluubirira, baasalawo ne bba Ibrahim Ssebijwenge okufuna anaabayamba ku mwana, era wano Seeka Umar we yajjira n’abagamba nti asobola okumulabirira era ne bamumuwa ng’aweza emyaka mukaaga mu 2016.
Wabula lumu, yategeezebwa nga omwana bw’abuze awaka, bwe yajja yamusanga ku poliisi e Nansana n’amutegeeza nga Seeka Umar bw’aludde ng’amutigaatiga era alina be yanyumizaako be baamuwa amagezi okuloopa ku poliisi, eyakwata Seeka Umar n’emuggalira.