Abantu 13 bayooleddwa mu kikwekweto ky'okufuuza ababbira ku pikipiki mu Kampala n'abo abazibba ne bazitema sipeeya n'okuzikyusa ennamba.
Mu kikwekweto kino ekikoleddwa mu Nakati Garage n'ekifo webooleza emmotoka mu Nakati e Nabbingo mu Kyengera Town Council , era bazudde pikipiki 44 ezigambibwa okuba enzibe n'okweyambisibwa mu bikolwa byobubbi.
Ezimu ku pikipiki kuliko UDM 696K, UMA 475JN, UDZ 123V, UMA 187W, UFZ 077U, UFQ 548Q n'endala.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Recheal Kawala, agambye nti kidiridde amawulire agalumiriza abantu bano nga bwe babadde babba pikipiki ne bazipangululira mu bifo ebyo