Amawulire

Omwana omuwala ow'emyeka 19 abadde asoma S.5, amasannyalaze gamusse ng'ali mu kugolola engoye , mu kazigo k'abadde apangisa

Omwana omuwala ow'emyeka 19 abadde asoma S.5, amasannyalaze gamusse ng'ali mu kugolola engoye , mu kazigo k'abadde apangisa. 

Omwana omuwala ow'emyeka 19 abadde asoma S.5, amasannyalaze gamusse ng'ali mu kugolola engoye , mu kazigo k'abadde apangisa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omwana omuwala ow'emyeka 19 abadde asoma S.5, amasannyalaze gamusse ng'ali mu kugolola engoye , mu kazigo k'abadde apangisa. 

Bibadde mu Namabasa Zooni 3A, Doko Ward mu Industrial division  e Mbale, amasannyalaze bwegasse Evaline Adongo abadde ali mu kugolola engoye.

Omugenzi, abadde asomera ku ssomero lya Gill Sherlock Memorial Secondary School mu Namabasa zone 3D , ng'apangisa ku nnyumba za Pastor Hassan Wabutwa. 

Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, agambye nti bakizudde ng'amasannyalaze gabadde mabbirire era nga Pastor Wabutwa akwatiddwa ng'akuumirwa ku poliisi e Mbale.