SANYU libuganye abavubi e Kalangala oluvannyuma lwa Minister omubeezi owe by'obulimi Hon Robert Migadde Ndugwa okubakiriza okudamu okuvuba Mukene naye nga bakozesa envuba gyebayita eya CHOTACHOTA naye n'abagamba nti balindeko okukozesa ettaala okutuusa nga omukulembeze we Gwanga nga awadde okuwabulwa kutaala mekka ezirina okukozesebwa .
Hon Migadde okwogera bino abadde asisinkanye abavubi be Kalangala ku myaalo egenjawuulo mu kuwenja akalulu ka Hon Aidah Nabayiga ayegwanyiza ekifo kyomubaka omukyala owe Kalangala ekirina okujjuzibwa oluvanyuma lwa Hellen Nakimuli okuva mubulamu bwensi nga yakawangula ekifo kino .

Hon Aidah Nabayiga nga ali ne minister omubeezi owe byobulimi Hon Robert Migadde Ndugwa mukunoonya akalulu e Kalangala
Ono agambye nti kituufu amanyi obulumi abavubi ba Mukene bwebayitamu kubanga naye yali muvubi nga tanayingira bya bufuzi nolwekyo wakubalwanirira kubanga amanyi buli ekikwata kukuvuba naye nabawa emyezi 2 omukulembeze asooke akole okuwabulwa kunsonga yetaala olwo balyooke batandiike okuvuba nga bakozeseza etaala .Mukusembayo Hon Migadde asabye abalonzi e Kalangala balonde Hon Aidah Nabayiga kubanga yamanyi ebizibu byabavubi olwo basobole okubawereza kubanga basobola okutuuka bulungi ewomukulembeze we Gwanga nga bamanyi ekyokola era nabazamu amanyi nti omukulembeze we Gwanga yakiriza okuwa abavubi ensimbi nokwekulakulanya zayise PDM wabavubi .

Minister omubeezi owe byobuvubi Hon Migadde Ndugwa ( mu Yellow) wamu ne RDC we Kalangala Fred Badda nga bali e Kalangala mukunoonya akalulu
Hon Aidah Nabayiga asabye abavubi okumuwa akalulu asobole okugenda okuteesa obulungi nga yegatta kubabaka abalala aba NRM abamanyi ebyobuvubi babateeseze ensonga zokuvuba zirongooke .
RDC we Kalangala Fred Badda agambye nti betegefu okutambuza akalulu Kano akaliwo nga 24 omwezi guno ogwa June era nti ebikozesebwa byakutuuka mangu mubifo webalondera naye nalabula abakozi befujjo nti bakukwatibwaako nga amateeka bwegalagira ate nabatambulira ku nyanja balina okufaayo ennyo kubanga enyanja sinunji mukiseera kino .