Omwana omuwala ow'emyeka 19 abadde asoma S.5, amasannyalaze gamusse ng'ali mu kugolola engoye , mu kazigo k'abadde apangisa.
Bibadde mu Namabasa Zooni 3A, Doko Ward mu Industrial division e Mbale, amasannyalaze bwegasse Evaline Adongo abadde ali mu kugolola engoye.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, agambye nti bakizudde ng'amasannyalaze gabadde mabbirire era nga Pastor Wabutwa akwatiddwa ng'akuumirwa ku poliisi e Mbale.