POLIISI ekutte abantu bana okuli n’omukazi ku bigambibwa nti bali mu kibinja ekyapangisibwa okutta abantu ku ssente eziri wakati w’emitwalo 20 ku 35.
Okukwatibwa kwabwe kuddiridde abantu abaasasulwa emitwalo 35 okutta omusuubuzi e Luweero kyokka ne batemulamussaalumanya eyabadde akyadde awaka!
GWE BAATUMA YATTA MULALA
Christine Mbawadde, Nnamwandu w’omugenzi Makumbi, yategeezezza, nti bba okuttibwa yali afulumye ebweru ng’agenze okweteewuluza abatemu gye baamuvumbagirira ne bamusanjagaebiso ku mutwe, mu bulago,ne ku mugongo, n’afa.
Godfrey Kiggundu, agambibwa okutta Makumbi ne Kasirye yatutte Poliisi n’agiraga engeri gye yattamu Makumbi, kyokka n’asaba ekisonyiwo ng’agamba nti, Isma Ntale,
n’omusawo w’ekinnansi, Godfrey Ssali, be baamuwabya. Yannyonnyodde nti, ddiiru gye
baamuwa yali yakutta Isaac Kasirye, era baamuwa emitwalo 35, gimuyambeko mu by’entambula nga bamukakasizza nti, Kasirye, yali azze mu nnyumba ye ey’oku ffaamu, e Bamunanika era awaka tewaaliwo muntu mulala. Nti kyokka yali tamanyi Kasirye bw’afaanana, olwalengera omusajja akuliridde ng’agenda mu kaabuyonjo, n’alowooza nti Kasirye. Yamulinda n’asooka amaliriza emikolo egimututte mu kaabuyonjo, bwe yali
afuluma n’amusanjaga ebiso eby’okumukumu n’agwa wansi, amangu ago, n’amusalako akagoye ku ssaati nga bwe yali alagiddwa, n’ayota. Kyokka Kiggundu agamba nti yasoberwa enkeera, Ssali ne Ntale, bwe baamutegeeza nti, omunt gwe yali asse yali mulala sso si Kasirye!
Yasaba bamwongereyo emitwalo 20, addeyo okutta omutuufu, era olwazimuwa, n’addayo n’atta Kasirye, gwe yalumba obutereevu mu nju mwe yali, n’amusanjaga ebiso ebyamutta!
Yagaseeko nti, Ntale ne Ssali buli lwe babadde bamutuma okutta, bamuteekako ebiragiro
ebikakali omuli okusala akagoye ku mpale, essaati, bulawuzi, oba okufuna akatambaala k’omu ngalo okuva ku muntu attiddwa akaliko omusaayi bye batwala mu ssabo nti basibe omuzimu.
SSALI AYOGEDDE
Ssali yasoose ne yeegaana eby’ejjambiya ebbiri ezaakozesebwa mu ttemu lya Makumb ne Kasirye kyokka oluvannyuma w’okukunyizibwa abamu ku baakola nabo, okwabadde Immaculate Nakanwagi, baatutte abaserikale ba Flying Squad, mu nimiro we baabadde bazikukulidde n’ebintuebirala okwabadde n’essaawa y’omu ku battibwa. Kigambibwa nti abasajja bano bateeberezebwa okuba nga bazze beenyigira mu ddiru z’okutta abantu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo olw’obumalirivu bwe balina n’ebissi ebirala ebyazuuliddwa ewa Kiggundu ne Ssali mu maka gaabwe ag’enjawulo.
Poliisi be yakutte kuliko; Isma Ntale, amanyiddwa nga ‘Brown’, Julius Ssali, Godfrey Kiggundu, ne Immaculate Nakanwagi, nga batuuze ku kyalo Bbuto mu Kyampisi mu Bamunaanika e Luweero.