Amawulire

KCCA egobye 10 ku by’amasannyalazeAbantu

KCCA egobye akakiiko ka bantu 10 abassibwawo okulondoola ensasula n’enzirukanya y’amasannyalaze mu katale ka St. Balikuddembe. Obuyinza KCCA yabukwasizza bassentebe b’abasuubuzi mu katale nga kati be bavunaanyizibwa ku kulondoola kkampuni eddukanya amasannyalaze nga mwe muli n’okulaba oba nga ssente ezisoloozebwa zitwalibwa ku akawunti y’ekitongole ky’ebyamasannyalaze ekya UEDCL

Ekitundu ku katale ka Owino nga bwe kifaanana.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KCCA egobye akakiiko ka bantu 10 abassibwawo okulondoola ensasula n’enzirukanya y’amasannyalaze mu katale ka St. Balikuddembe.

Obuyinza KCCA yabukwasizza bassentebe b’abasuubuzi mu katale nga kati be bavunaanyizibwa ku kulondoola kkampuni eddukanya amasannyalaze nga mwe muli n’okulaba oba nga ssente ezisoloozebwa zitwalibwa ku akawunti y’ekitongole ky’ebyamasannyalaze ekya UEDCL .
Kiddiridde abasuubuzi okwemulugunya nti ebbanja ly’amasannyalaze mu katale buli lunaku lyeyongera kulinnya era we baaviiriddeyo okutuukirira KCCA ng’akatale kabanjibwa obukadde 190.
Ebbanja lino litiisizza abasuubuzi ne beewuunya engeri gye lizze likula. Baagambye nti, abaddukanya amasannyalaze aba kkampuni ya ‘Masanyalaze Group’ we baabaweera obuvunaanyizibwa ebbanja lyali ku bukadde 150 kyokka wayiseewo ebbanga ate mu kifo ky’okukukendeera lyeyongedde kugejja.
Ku Lwokubiri KCCA yayise olukiiko lwa bassentebe abatwala ebiyumba byonna 110 mu katale ka Owino ne bateesa ku kizibu ky’amasannyalaze era ne bavaawo nga bakkiriziganyizza nti tegaddamu okwongezebwa abasuubuzi bagabagulize ku 690/-.
Abakulembeze ab’enjawulo mu kibuga bawabudde nti KCCA tennaba kukola kimala kuyamba basuubuzi kubanga amasannyalaze gakyali ku buseere.
Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu ggwanga ekya NETA Thadias Musoke yagambye nti, yuniti bandibadde bagisasuza 200/- zokka.
Meeya wa Kampala Central Salim Uhuru yagambye nti, KCCA y’esibye ekizibu ky’amasannyalaze mu St. Balikuddembe kubanga lwaki egalekamu abagaddukanya ate ng’akatale kaayo?
Yagambye nti, agenda kwogera ne dayirekita wa Kampala ku nsonga eyo bagimale kubanga ne ssente ezo 690/- ze boogerako nnyingi.
Ssentebe w’ekibiina kya FUTA John Kabanda yasabye abasuubuzi okunywerera ku nsonga y’okulwanyisa okunyigirizibwa nti, beegatte bakolere wamu kubanga ssente babadde babasoloozaako nyingi.
Olukiiko lwasazeewo ensonga nnya, okuli;.
lObutaddamu kwongeza masannyalaze abasuubuzi basasule 690/- buli yuniti.
lBuli ssentebe wa kiyumba y’agenda okulondoola engeri abaddukanya amasannyalaze gye bakolamu emirimu naddala mu kusasula ssente.
lBammemba ku kakiiko akabadde kalondoola engeri amasannyalaze gye gasasulwa mu UEDCL bayimiriziddwa obuyinza ne babuwa bassentebe b’ebiyumba.
lBagenda kuddamu bawandiikire aba UEDCL ku miwendo emituufu egiteekeddwa okusasulwa.
Omwogezi wa KCCA Daniel Nuwe Abiine yagambye nti tewali kwongeza masannyalaze basasule 690/- buli yuniti era tewali ateekeddwa kukiwakanya.