POLIISI ekutte akulira abakozi mu disitulikiti y’e Mbarara, David Muhwezi nga kigambibwa nti, yeenyigira mu kugaba ettaka ery’olukale ku lusozi Kamukuzi nga tagoberedde mateeka.
Muhwezi yakwatiddwa ku Lwokubiri ku biragiro by’akulira akakiiko akalondoola ensaasaanya y’ensimbi ez’omuwi w’omusolo, Herbert Kamugisha.
Yasoose kuggalirwa ku poliisi y’e Bwizibwera gye yajjiddwa n’atwalibwa ku poliisi ya CPS mu kibuga Mbarara gy’akuumirwa.
Kamugisha yalagidde nti, Muhwezi ne bw’anaaba ayimbuddwa ku kakalu ka poliisi talina kudda mu ofiisi, okutuusa ng’okunoonyereza kuwedde.
Kyazuuliddwa ng’ebitongole okuli ekya Procurement and Disposal of Public Assets Authority (PPDA), Auditor General, Solicitor General, Uganda Management Institute, Makerere University n’ebirala byaweebwa ettaka nga tebayise mu mitendera mituufu.
Tewaliiwo biwandiiko biraga nkiiko zaatuula kusalawo okuwaayo ettaka era nga n’awamu ebiwandiiko biraga nga baalitundira ku bbeeyi ya wansi, bw’ogeraageranya n’ebbeeyi y’ettaka mu kitundu.
Akakiiko era keewunyizza engeri ettendekero lya Kampala International University (KIU) gye lyakozesa obwangu okufuna ettaka wadde nga waaliwo ebitongole ebirala ebyalisooka okuteekayo okusaba.
KIU yali yaakuweebwa yiika nnya, kyokka n’efuna yiika munaana. Wadde nga waliwo ebiwandiiko ebyava mu ofiisi ya Kaliisoliiso nga baliko bye babuuza tewali kyatereezebwa.
Poliisi era yalagiddwa okukwata ssentebe w’akakiiko akagaba kontulakiti aka District Contracts Committee ne District Planner