ABASUUBUZI mu katale k’e Nyendo bataamye nga bawakanya akakiiko k’ebyokulonda mu katale kano okwagala okubasibako abakulembeze ababaddeko be balumiriza nti balemereddwa okutambuza emirimu obulungi.
Kiddiridde akakiiko k’ebyokulonda akakulemberwa Grace Kisakye, Nnaalongo Kiweewa n’abalala okutegeka okulonda abakulembeze abaggya ab’abasuubuzi mu katale kano oluvannyuma lw’ekisanja ky’ababaddeko okuggwaako. Abasuubuzi basoose kuteeka ssentebe abaddeko, Kyobe Mutebi ku nninga abannyonnyole ensimbi z’abadde akung’aanya mu basuubuzi ky’abadde azikozesa. Kyobe mu kwewozaako yategeezezza nga ensimbi ezimu bwe yazikozesa mu kugulira abasuubuzi yunifoomu n’emirimu egitali gimu ekitaamatizza abamu ku basuubuzi bano.