Amawulire

Aba ssaaluuni bafunye obuwumbi eyattiddwa ayogedde ku mugenzi

TAATA w’omukuumi w’omuyimbi Joseph Mayanja (Jose Chameleon) eyattiddwa atangaazizza ku nsonga eziyinza okuba nga ze zassizza mutabani we n’asaba poliisi enoonye omutemu avunaanibwe kuba alabika azze yeenyigira mu bumenyi bw’amateeka obw’enjawulo mu kitundu.

gw'okutereka ssente
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

TAATA w’omukuumi w’omuyimbi Joseph Mayanja (Jose Chameleon) eyattiddwa atangaazizza ku nsonga eziyinza okuba nga ze zassizza mutabani we n’asaba poliisi enoonye omutemu avunaanibwe kuba alabika azze yeenyigira mu bumenyi bw’amateeka obw’enjawulo mu kitundu.
Rashid Ruman omutuuze mu zooni ya Kisenyi mu muluka gwa Bwaise I mu munisipaali y'e Kawempe ye yafiiriddwa mutabani we Isa Aligo Rashid (si Atigo nga bwe lyasoose okuwandiikibwa). Ruman yagambye nti, mutabani we wadde yakula ng’asoomoozebwa embeera y’ekitundu nga bamuteebereza n'okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka, yagenze okuttibwa nga yakyuka era abatuuze babadde bamwenyumirizaamu.
“Omwana wange abadde yakyuka nnyo era nga yatandika n’okusaala. Mbadde nnina essuubi nti bwe ndiba nfudde, yajja okunsikira akumeekume banne kyokka yattiddwa mu bukambwe nga talina musango gw’azzizza,” Ruman bwe yagambye.
Yayongeddeko nti, olw’okuba abadde yatereera, abadde akoze kinene mu kutangira obumenyi bw’amateeka mu bitundu by'e Kawempe era ng'abuulirira abamenyi b'amateeka ne beetereeza.
Yasabye poliisi ekwate Shida agambibwa okuba nga ye yasse Aligo na bonna abayinza okuba nga beekobaanye naye mu ttemu lino. Yagguddewo omusango gw’obutemu ku poliisi y'e Kawempe ku ffayiro nnamba SD REF:90/416/2026.
Aligo yalese abaana 6 mu bamaama ab’enjawulo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Racheal Kawala yagambye nti, bakyanoonyereza era essaawa yonna abaamusse bajja kukwatibwa, batwalibwe mu kkooti bavunaanibwe.
Aligo yafa ku Lwokuna lwa wiiki ewedde mu ddwaaliro e Mulago nga kigambibwa nti yafumitibwa Shida ekyuma ekisongovu mu kifuba.