Amawulire

Omulangira Nakibinge atongozza awajjanjabirwa aba nnalubiri e Kayunga

GAVUMENTI efungizza okulwanyisa obulwadde bwa nnalubiri  okulaba nga butuulibwa ku nfeete.

Omulangira Nakibinge atongozza awajjanjabirwa aba nnalubiri e Kayunga
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

GAVUMENTI efungizza okulwanyisa obulwadde bwa nnalubiri  okulaba nga butuulibwa ku nfeete.
Mu kiseera kino abaana 20,000  be bazaalibwa n’obulwadde buno era ku bano bangi bafa nga  tebannaweza myaka etaano ate e Kayunga ku buli baana 100 be  bakebera, basatu bazuulwamu obulwadde bwa nnalubiri. Jjajja w’Obusiraamu, Omulangira Dr. Kassim Nakibinge Kakungulu yatongozza ekifo ekijjanjaba n’okulabirira abalina  nnalubiri ekizimbiddwa ku ddwaaliro lya Kayunga  Regional Referral hospital.  Omulangira Nakibinge yasabye olukiiko lwa Baminisita lukyuse mu kiteeso kye  lwayisizza eky’okuggyawo ensako y’abasawo abakyayiga (Medical Interns Allowances) kuba abasawo abaliwo tebamala era nga bano abakyayiga bayambako kinene okuziba ekituli. Yasiimye abaddukanya eddwaaliro ly’e Kayunga nga bakulirwa Dr. Robert Ssentongo olw’obuyonjo n’abatonera ente bbiri bookye ennyama balye.
Eddwaaliro erijjanjaba nnalubiri livujjiriddwa ekitongole kya Islamic Centre for Education and Research era okusinziira ku akikulira Hajj Yusuf Jjemba, bataddemu ekifo abalwadde we batuukira, ebitanda, ebyuma ebikebera n’ebirala ebiwemmense obukadde 500.