Amawulire

Nnaalongo Zawedde ayogedde bba by'ayitamu mu kkomera e Luzira

FFAMIRE ya Erias Lukwago yayogedde n’akulira amakomera ku nsonga y’obulamu bw’omuntu waabwe n’abakkiriza bamutwalire ebikozesebwa ebisobola okumuyamba okubeerawo obulungi.

Muka Lukwago mu kusoberwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

FFAMIRE ya Erias Lukwago yayogedde n’akulira amakomera ku nsonga y’obulamu bw’omuntu waabwe n’abakkiriza bamutwalire ebikozesebwa ebisobola okumuyamba okubeerawo obulungi.
Nga bakulembeddwa mukyala we Nnaalongo Zawedde Lukwago, baatuuse mu kkomera ku ssaawa 1;30 ey'akawungezi ku Lwokusatu ne bakkirizibwa okumulaba kyokka yabadde mugonvu ate nga mukoowu olw'embeera embi gye yayisiddwaamu.
Bennyamidde okumusanga nga omubiri gwonna gumuluma olw'embeera embi gye baagambye nti gye yayisiddwaamu. Nti embeera y’okumwebasa wansi nga yeebakira ku mugongo n’okumufukamiza ate ng’alinamu ekyuma mu mubiri, kyamuyisizza bubi.
Nnaalongo yategeezezza nti okutulugunyizibwa kwe yayiseemu kyattudde obulumi obwamuviirako okutwalibwa mu ddwaaliro okulongoosebwa era okubeerawo obulungi, yeetaaga okuddamu okuwabulwa abasawo ababadde bamubeerako.
Yategeezezza nti, nga kkooti bwe yalagidde, basoose kwogera n’akulira amakomera Dr. Johnson Rwashote Byabashaijja ku bye baabadde bateekwa okumutwalira n’abakkiriza.
BYE BATUTTE;
l Bamutwalidde omufaliso gw’amagumba ogukkirizibwa abasawo okwebakako.
l Bamutwalidde akatebe k'ateekeddwa okutuulamu nga kalimu omutto ogusobola okukwata ekyuma ekyamussibwamu ne kitaseeseetuka.
l Bamutwalidde ekisipi ekikwata obulago okwewala okuseeseetuka ku magumba agayunga ku mugongo.
l Bamutwalidde eddaggala eryamulagirwa okumira mu biseera eby'enjawulo.
l N’ebika by’emmere by'atekeddwa okulya okusobola okubeezaawo obulamu.
Lukwago yalongoosebwa erimu ku ggumba ku mugongo ne bamuteekamu ekyuma.
Abasawo baamuwa ebiragiro by’ateekeddwa okugoberera omuli obutatuula budde buwanvu ate ng’atuula mu kifo ekigonda ssaako obutamalabudde buwanvu nga talidde bika bya mmere bye baamulagira.
Mu zimu ku ndwadde ezimutawaanya, era mulimu n’ekizibu ky’okussa ekiva ku mawuggwe nti ssinga abeera mu kifo ekitaliimu mpewo emala, asobola okuziyira.
Ebimu ku byeraliikiriza ennyo Nnaalongo, bye bifaananyi ebyalagibwa ng’asibiddwa ekiwero mu maaso okutwaliramu emimwa n'ennyindo. Yatya nnyo n’ategeeza nti kino kimulumiza ddala kubanga akaluubirizibwa mu kussa era bw'ataba na ddaggala lye, aba mu bulumi.
Erimu ku ddaggala baalimutwalidde n’ebintu ebisobola okumuyambako okubeerawo kyokka bakyali beeraliikirivu olw'embeera y’ekkomera gy’atamanyidde nti y’ensonga lwaki bw’abadde alaba oba okuwulira omuntu anyigirizibwa, abadde akwatibwako nnyo n’avaayo okumulwanirira.
Bannamateeka mu kibiina kyabwe ekibagatta bagenze ne beebuuza ku Mulangira Kassim Nakibinge e Kibuli ku mbeera eyatuusiddwa mu mmemba munnaabwe Lukwago abawabule era baavumiridde ekikolwa ky’okumuwamba ekyakoleddwa wadde yatwaliddwa mu kkooti.
Eggulo aba ffamire baategeezezza nti, bagenda kuddayo bamutwalire emmere kubanga olukusa olwabaweereddwa lwabadde lukyaliko okugenda mu maaso n’okumulaba.
Looya we Medard Sseggona, ku Lwokusatu yategeezezza nti okukwatibwa kwa Lukwago kusoomoozebwa kunene eri essiga eddamuzi naddala ku bannamateeka kubanga omuntu abadde awolereza abantu nga n’emisango gyabwe mingi y'agirimu, ate okukwatibwa kibateeka mu kutya.